Omukugu mu kujjanjabisa ebyokulya, Dr. Silvano Dhayira owa Gracious Medical Centre e Bweyogerere agamba nti, Vitamiini C mu mapeera alina endwadde nnyingi zaawonya.
Annyonnyola nti, ayamba okwongera ku bungi bw’enkwaso mu basajja.
Akkakkanya obulwadde bw’ekikulukuto mu bakyala.
Okuvumula olusu mu kamwa.
Omusawo agamba nti, amapeera obutafaananako bibala birala lirina obusigo nga nabwo bulimu ebirungo ebiyamba okujjanjaba ennyingo ezimenyese n’okuliikiriza abaana mu bakyala abembuto.Â
Galimu ebirungo bya calcium, protein, fiber, niacin, phosphorous n’ebirala ebirwanyisa endwadde n’okukuuma omubiri nga mulamu.
Gakola nnyo ku kuwonya amabwa. Ofuna eppeera n’olisalamu wakati amazzi agalimu n’ogayiwa ku kiwundu era gakikaza.
Ebikoola bikola nnyo mu kuijjanjaba ekifuba ne ssennyiga.
Gayamba okulongoosa olususu n’okutangira enkanyanya ate n’okuziyiza obuwuka obulumba olususu.
Gayamba okusala amasavu agayitiridde mu mubiri.
Abalina endwadde y’entunnunsi bayambibwako okukkakkana bwe balya amapeera olw’ekirungo ekirimu. Â
Omubisi guyamba okusumulula olubuto olwesibye n’okwoza mu kyenda ekinene.
Amapeera n’ebikoola byago biyamba okujjanjaba endwadde omuli alusa, ekibuno ekizimbye, n’amannyo agaluma, asima, obunene mu baana abato n’endwadde endala.
‘Amapeera gongera ku bungi bw’enkwaso’