TOP

Nywa omubisi gwa ppiya oziyize alaje

Added 23rd March 2011

Ppiya zirimu ebirungo nga  Zinc, Potassium, Phospherous, Iron, Calcium, Vitamin C, ebiriisa ebizimba omubiri ne ssukaali ow’obutonde.

omukugu mu by’emmere, Dr. Silvano Dhayira owa Gracious Medical Centre e Bweyogerere agamba nti, ppiya bibala abalwadde ba ssukaali bye batalina kubuusa maaso.

Ppiya zirimu ebirungo nga  Zinc, Potassium, Phospherous, Iron, Calcium, Vitamin C, ebiriisa ebizimba omubiri ne ssukaali ow’obutonde.

omukugu mu by’emmere, Dr. Silvano Dhayira owa Gracious Medical Centre e Bweyogerere agamba nti, ppiya bibala abalwadde ba ssukaali bye batalina kubuusa maaso. Ppiya erimu ebiriisa ebiyamba okwongera ku bungi bw’omusaayi ne ssukaali w’obutonde mu mubiri.

Ppiya mu baana abato ziyamba okukkakkanya alaje.

Ekirungo kya vitamiini C ekirimu kiyamba okukuuma abaserikale b’omubiri abalwanyisa endwadde nga ba maanyi.

Okulya ppiya buli lunaku kiyamba okukkakkanya puleesa n’okuziyiza okusannyalala.

Obungi bw’ekirungo kya ‘pectin’ bukendeeza ku butto oba amasavu agateetaagisa mu mubiri.
Omubisi gwa ppeya gulimu ekirungo kya ‘boron’ ekigumya amagumba n’okugaziyiza okulumbibwa endwadde.

Eggiraasi y’omubisi gwa ppiya gukkakkanya omusujja.

Zirimu asidi ayitibwa wa Hydroxycinnamic ayamba  kiyamba okukkakkanya kookolo w’omu lubuto n’owamabeere. Okamula omubisi gwa ppiya n’ogattamu ogwa apo n’onywa buli lunaku.

Ebimu ku biriisa ebirimu biyamba okugogola amawuggwe n’okukkakkanya  ekifuba n’endwadde z’amawuggwe.

Ppiya era ziyamba mu kusalaasala emmere mu lubuto omubiri ne gusobola okugifunamu ekiriisa kye gwetaaga.

Bw’ozirya era ziyamba amaaso okulaba obulungi.

Nywa omubisi gwa ppiya oziyize alaje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....