TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Endwadde 10 eziva ku bintu ebikadde by’okozesa

Endwadde 10 eziva ku bintu ebikadde by’okozesa

Added 19th January 2011

Dr. Ivan Mukasa, owa St. Jude Medical Centre agamba nti waliwo ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo abantu bye batassaako mwoyo kyokka nga bibalwaza.

 


lAkasenya kamu ku bintu bino era abamu balwala ebibuno ne batamanya nti ke kabalwaza. Akasenya akakadde kawunyisa akamwa kuba k

Dr. Ivan Mukasa, owa St. Jude Medical Centre agamba nti waliwo ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo abantu bye batassaako mwoyo kyokka nga bibalwaza.

 


lAkasenya kamu ku bintu bino era abamu balwala ebibuno ne batamanya nti ke kabalwaza. Akasenya akakadde kawunyisa akamwa kuba kaba tekakyatukuza ekivaako emmere okusigala mu mannyo n’egaga. Buli luvannyuma lwa wiiki bbiri kirungi okyuse akasenya naddala obw’abaana ate kakuume nga kayonjo.

Engatto enkadde
Engatto enkadde ziwunyisa ebigere n’obulwadde obubiyubula n’okuleeta ensalika.  Buli lw’olaba ng’engatto zikaddiye lekera awo okuzambala kuba ziba zisika mangu obuwuka obulwaza.
   
Ettawulo
Ettawulo enkadde efuumuukako ekkukuuzi erirwaza endwadde ezikwatagana n’ekiwanga, era abalina sayinaasi oba asima zitra okumuttula, ate nga zivaako ne ssenyiga atawona.

Ebisiimuula
Ebisiimuulwa bikuuma obuwuka bungi singa tebiyonjebwa oba bwe bikaddiwa. Singa okikozesa nag kikaddiye kikulwaza engalo ne zifuuka kyenvu, zizimba.

Ekyangwe
Ekyangwe ekikadde kirwaza olususu n’ofuna endwadde omuli oluwumu, olusolo, ebinyaanya n’endala nga byonna biva ku bujama.

Omufaliso
Guno gulwaza omugongo, endwadde z’ekiwanga olw’okufuumuuka ekkukkuuzi lyagwo.
Guleeta ekisu olw’entuuyo.

Ekisanirizo
Obukulula, ebisitula n’ebirala naddala ebikozesebwa ku nviiri ezisiigibwamu ebizigo bizaala endwadde z’omu mutwe. Ebiguuna n’ebisente zimu ku ndwadde zino. 

Omulawo
Omulawo ogufumba enva oba ogugoya akawunga n’emmre endala gufuuka gwa butwa bwe guyitirira obukozesebwa. Egy’emiti givaako obubajjo oluusi obuyitira mu mmere nga bwa bulabe eri abulidde.
 
Sitokisi

Sitokisi enjama ziwunyisa ebigere n’okubifumba olw’obuwuka obuzibeeramu. Muno mugenderamu ezo ezaanikibwa nga tezoozeddwa kuba obuwuka busigala busika ekisu ky’obujama ne buzigendamu.

Obutto bw’entebe n’obwezizikwa
Singa akatto kano katandika okukunjubuka  oba okulaga nti kafuumuuka ekkukkuuzi kookye owone endwadde z’ekiwanga.
Dr. Mukasa agamba nti singa omuntu akuuma obuyonjo n’okukyusa ebintu byakozesa mu bulamu obwa bulijjo nga bwe kisaanidde aba atangidde endwadde nnyingi okumulumba.

Endwadde 10 eziva ku bintu ebikadde by’okozesa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...