TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emmere gy’olina okulya ku Ssekukkulu onyumirwe olunaku

Emmere gy’olina okulya ku Ssekukkulu onyumirwe olunaku

Added 22nd December 2010

Abasinga bettanira ebisiike, obumpwakimpwaki nga batandika okubirya ku makya okuzibya obudde eky’obulabe eri obulamu bwabwe.

 Dr. Simon Peter Katongole, owa Afrikana Center e Kajjansi agamba nti osobola okulya buli ky’oyagala ku Ssekukkulu mu ngeri eneekukuuma ng’oli mulamu. Agamba n

Abasinga bettanira ebisiike, obumpwakimpwaki nga batandika okubirya ku makya okuzibya obudde eky’obulabe eri obulamu bwabwe.

 Dr. Simon Peter Katongole, owa Afrikana Center e Kajjansi agamba nti osobola okulya buli ky’oyagala ku Ssekukkulu mu ngeri eneekukuuma ng’oli mulamu. Agamba nti:

Lya emmere erimu ebiriisa ebyenjawulo era weewale okulya emmere egenda okutuula mu mubiri efuuke obutwa.

Ekyenkya
osobola okulya ebibala, amagi, okunywa amata n’emmere ey’empeke ng’ebinyebwa n’entungo.
Bino biyamba okuwa omubiri amaanyi aganaakuyisa mu lunaku.

Ekyemisana
Ebimu ku bika by’emmere by’otolina kwerabira byebirimu sitaaki ng’omuceere, amatooke, obummonde ne lumonde ebiwa omubiri amaanyi.
Kuno teekerako enva ez’ennyama, enkoko, ebyennyanja, ebijanjaalo.
Osseeko saladi w’ennyaanya, ovakedo, cucumber, obutungulu enva endiirwa eza kiragala omuli nakati, ebbuga, ejjobyo, katunkuma, ensugga doodo n’ebirala byonna ebirimu ekiriisa ekizimba omubiri  ne Vitamiini ate bizzaamu omusaayi.
Kirungi obutasiika ebiriisa ne bisobola okusigala mu mmere.
Bw’oba tosobola kukyebeera bw’osiika enkoko, ennyama gisaaniike.

Ekyeggulo
Si kirungi okulya emmere enzito nga ku kyemisana kuba omubiri guba tegusobola kugikozesa mangu.
Lya saladi omuli emboga, kaloti, kaamulali omunene, cucumber, n’ebirala.
Ebibala tebirina buzibu era birye mu bungi n’okunywa amazzi kuba biyamba okwoza mu mubiri obucaafu era birwanyisa endwadde.
 
Ng’omalirizza okulya  omubiri gukozese ku dduyiro emmere esobole okukozesebwa mu kifo ky’okutuula okufuuka amasavu n’okuvunda.
Lya mpolampola okwewala okukosa omubiri.

BYA ALICE NAMUTEBI

Emmere gy’olina okulya ku Ssekukkulu onyumirwe olunaku

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...