TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Eddagala erikkakkanya obulumi lirwaza ekibumba singa olyemanyiiza

Eddagala erikkakkanya obulumi lirwaza ekibumba singa olyemanyiiza

Added 15th September 2010

Dr. Steven Mukasa owa St Vincent Hospital e Mengo agamba nti okumira eddagala erikkakkanya obulumi nga tomaze kumanya kiki kikuluma oba nga ayozezza ate n’ayanika mu ttaka kuba oyinza okufunamu obuzibu n’okwongera okukonya obulwadde.

Mu ddagala erikkakkanya obulumi mulimu ery’amaker

Dr. Steven Mukasa owa St Vincent Hospital e Mengo agamba nti okumira eddagala erikkakkanya obulumi nga tomaze kumanya kiki kikuluma oba nga ayozezza ate n’ayanika mu ttaka kuba oyinza okufunamu obuzibu n’okwongera okukonya obulwadde.

Mu ddagala erikkakkanya obulumi mulimu ery’amakerenda, ery’empiso, kapiso n’ebizigo. Mu makerenda mulimu ekika kya Panado, Asipirini, Dayikulofenaka, Ibrufeni, n’eddala. Ebika bya kapiso mulimu Endosiidi, Pirokisamu, Olifeni n’eddala.  Ery’empiso waliwo Pephedine, Dayikolofenaka n’eddagala eddala. Ery’ebizigo mulimu Reumaatic n’ebika ebirala.

Eddagala lino lirimu ebirungo eby’enjawulo naye nga birina obulabe ku bulamu bw’abantu okugeza eddagala lya hedex, asipiriini, dayikulofenaka mulimu asidi. Dexa, payiroxitamu, prenisolone, endosiidi mulimu ekirungo kya seroyidi. Kodeyini, pethidine omuli enjaga
Obulabe

l Empeke omuli asidi zireeta amabwa mu lubuto singa ozimira nga tolidde. Likwokya mu lubuto olwo ne mujjamu amabwa abasinga ze bayita alusa. Bw’oba nga tosobola kuzeebera waakiri sooka ofune eky’okulya olyoke omire. Naye nga kirungi okusooka okulaba omusawo n’amala okukukebera olwo n’akuwa eddagala ettuufu ly’olina okumira sso si ggwe kugenda ku dduuka ne weegulira lyiyagala.

l Eddagala eririmu enjaga okugeza panadol, hedex, action n’eddala lino ligenda ku bwongo ne weesanga nga bw’oliyitiriza okulimira otandika okuwungamu nga tolina ky’osobola kukola nga tolimize.

Eddagala lino lisobola okulwaza ekibumba. Jjukira nti libaamu nalyo asidi, olulimira ligenda ku kibumba ne lyokya akabubi olwo ne kitandika okuyingiza amazzi ekivaamu kulwala.

l Eddagala eririmu ekirungo kya seroyidi ate nalyo lya bulabe kuba bw’olimira lisobola okugaana eddala erikuwonya obulwadde obukuluma okukola mu mubiri. Okugeza ng’omize eddagala ly’omusujja, kisoboka okugaana okukola singa oba wasoose kumira ddagala lirimu ekirungo kya Seroyidi.

l Obulwadde bukula: Jjukira nti eddagala lino likkakkanya bulumi naye teriwonya. Kino kitegeeza nti buli lw’omira obulumi ne bukkakkana ate kyo ekirwadde kiba tekiwonye kisigala kikuluma ate nga kikona n’okwongera okukula.

Dr. Mukasa agamba nti si kirungi muntu kumira ddagala lyonna erikkakkanya obulumi nga tanaba kulaba musawo kuba olumu ayinza n’okulimira nga tasaanidde kumira ddagala eryo ekiyinza okumuviiramu obuzibu.

BYA EDWARD SSERINNYA

Eddagala erikkakkanya obulumi lirwaza ekibumba singa olyemanyiiza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...