TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okulya emmere y’ebirungo ebingi kirwaza kookolo

Okulya emmere y’ebirungo ebingi kirwaza kookolo

Added 15th September 2010

Dr James Kafeero akolera mu kitongole ekijjanjaba kookolo agamba nti abantu boolekedde okulumbibwa kookolo w’ekisakiro okuva ku birungo bye tukozesa mu kufumba emmere.
Gwoktho George 40 ow’e Nebbi y’omu ku balwadde ba kookolo w’emimiro. Agamba nti yatandika n’okulumizibwa mu kifuba nâ

Dr James Kafeero akolera mu kitongole ekijjanjaba kookolo agamba nti abantu boolekedde okulumbibwa kookolo w’ekisakiro okuva ku birungo bye tukozesa mu kufumba emmere.
Gwoktho George 40 ow’e Nebbi y’omu ku balwadde ba kookolo w’emimiro. Agamba nti yatandika n’okulumizibwa mu kifuba n’omugongo mu 2009.
Agamba nti yakalubirirwanga okumira. Ab’omu ddwaaliro e Ggulu eriyitibwa Nakiwo ne bamugamba nti alina alusa. Baamuwa eddagala ne litamuwonya. N’asalawo okudda mu ddwaaliro erya Angalo ne bamukebera oluvannyuma ne bamusindika e Mulago.
E Mulago baazuula nti alina kookolo w’emimiro ne batandika okumuwa obujjanjabi
Dr. Kafeero agamba nti kookolo w’emimiro atandikira mu lubuto omubeera emmere era asobola okuwona singa aba alabise mangu najjanjabibwa.
Ebirwaza kookolo w’ekisakiro
l Okunywa ennyo sigala n’omwenge naddala walagi atali mulongoose.
l Okulya kaamulali omungi
l Emmere omuli ebirungo ebingi
l Okwelumya enjala asidi nayitirira mu lubuto.
Obubonero
l Ofuna ekikunyoola ku mutima
l Okutumbiira olubuto
l Okusesema omusaayi
l Okufuluma empitambi enzirugavu oba nga mulimu omusaayi
l Okusaanuukirira olubuto nga lukusalirira
l Ekikeeto
l Okubejjagalabejjagala
l Okwejanjabya ulcers nga teziwona
l Okukkuta amangu kuba oluusi omuntu afuna ebizimba mu kisakiro ne kifunza olubuto
Akubiriza abantu okwewala okunywa ennyo omwenge, okulya emmere omuli ebirungo ebingi naddala omunnyo omungi, butto, n’obunzaali kubanga byonoona olububi mu lubuto ekivaako omuntu okufuna amabwa mu lubuto. 

Bya Olive Lwanga ne Ruth Nazziwa

Okulya emmere y’ebirungo ebingi kirwaza kookolo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...