TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Bwe nzimba mu bukazi nga nvaamu amasira, aba siriimu?

Bwe nzimba mu bukazi nga nvaamu amasira, aba siriimu?

Added 10th February 2010

Eddagala ng’eryobuweke obumiribwa lisabikibwa ne mu bupakiti bwalyo ne lisonsekebwa mu mukono gw’omukyala nga basoose kusalawo. Kikutwalira emyaka etaano ng’oli nabwo mu mukono wabula basobola okubuggyamu n’ofuna olubuto bw’oba oyagadde.

Tebulina bulabe bwonna eri omukyala era b

Eddagala ng’eryobuweke obumiribwa lisabikibwa ne mu bupakiti bwalyo ne lisonsekebwa mu mukono gw’omukyala nga basoose kusalawo. Kikutwalira emyaka etaano ng’oli nabwo mu mukono wabula basobola okubuggyamu n’ofuna olubuto bw’oba oyagadde.

Tebulina bulabe bwonna eri omukyala era bukola bulungi ku bakyala abatasobola kukozesa nkola ndala zonna. Nga bwe guli ku nkola y’empeke omukyala ayinza okugejja oba okukogga n’abamu babulwa omwoyo gw’okulya naye oluvannyuma otereera.

Nkole ntya omwana wange okuwona okufuka ku buliri? NS -Seguku    
Okufuka ku buliri kiva ku bintu eby’enjawulo omuli omwana okunywa ennyo naddala ng’agenda okwebaka n’atasobola kuzuukuka kugenda kufuuyisa ekimuviirako okufuka ku buliri. Bw’olaba nga ye nsonga, kendeeza okumuwa eby’okunywa ekiro.
Wabula waliwo ababa n’obuzibu ku kawago nga kikwetaagisa okutwala omwana wo mu ddwaaliro ne yeekebejjebwa. Naye abaana abasinga bafuka ku buliri ne bakendeeza nga bagenda bakula.

Nkubwa obuzimba mu bukyala era buvaamu amasira. Oyo ssi siriimu?
Endwadde z’obukaba nnyingi eziba n’obubonero nga bw’oyogerako okugeza kabootongo, enziku n’endala, wabula tosobola kumanya kituufu okuggyako ng’olabye omusawo n’akukebera. Naye kirungi weekebeze omusaayi okumanya bw’oyimiridde. Bw’otobwanguyira osobola okugumbawala.

Katunguluccumu omubisi n’omufumbe aliwa asinga okubaamu eddagala, era muteekateeka ntya? UN-Kyotera             

Katunguluccumu omubisi y’asinga ekiriisa era oyinza okumusalaasala n’omugaaya, osobola okumukamulamu omubisi oba okumumira omulamba. Ajjanjaba endwadde nnyingi omuli n’okulongoosa olubuto.

Osobola okumuteeka mu nva nga zinaatera okuggya n’ataggwamu kiriisa.

Nnalwala ekifuba  eddoboozi ne lisaakaala, wabula bwe kyawona eddoboozi teryatereera. Nkole ntya? NN-Kampala
Waliwo ekifuba ekiruma omuntu ne kiwona kyokka ng’obuwuka obukireeta bwayingira mu ddokooli omuva eddoboozi nga bwe bukyakulemesezza okutereera nga kikwetaagisa okulaba omusawo akuwe obujjanjabi obwetaagisa.

Omwana wange afukaafuka buli kiseera. Kino kiva ku ki? Olivia-Kampala    Omwana okufuka ssi kibi okuggyako ng’akikola ekiyitiridde. Ate singa buli lw’ayagala okufuka akunkumula amazzi matono nnyo kayinza okuba akabonero k’obulwadde bwa ssukaali w’abaana oba ng’alina obuzibu ku kawago.     

 

Akawago bwe kaba ke kalwadde ke kamulemesa okusiba omusulo. N’olwekyo mutwale ew’omusawo amuwe obujjanjabi obusaanidde nga bukyali.

Ntandika ddi okunywa eddagala nga nfunye olubuto? N M-Wakaliga
Kisaana maama okugenda mu ddwaaliro okuva ku myezi ebiri oba esatu singa aba talina buzibu bwonna.

Nnina olubuto lwa myezi ebiri naye ku makya mbeera munafu nnyo era nfuna n’olusujjasujja. Kiva ku ki? K A
Abakyala bangi bwe bafuna embuto banafuwa olw’enkyukakyuka eziba zizzeewo mu mubiri wabula buno ssi bulwadde. Olina okwekakaba n’okola omubiri ne gufuna amaanyi kiyambe omwana okutonda obulungi ddala mu myezi esatu egisooka. 

 Tomira ddagala lyonna nga terikuweereddwa musawo kuba erimu likosa omwana n’afuna obulemu ku mubiri.
  Era ba maama mwenna mufube okukola dduyiro atali wa maanyi nnyo.

Lwaki buli kyendya mpulira kinkaayirira ate nsesema buli kye ndidde? TT
Topapira kulya kintu kyonna wabula twala obudde bwo. Lyako katono oyiseewo akaseera oddemu okulya.
 Kino kitera kumala emyezi ena n’otereera teweeraliikirira.
Obutasesema lya ebyo by’owulira ng’emmeeme eyagala era weewale n’ebisiikesiike.
Wettanire emmere enkalu. Wabula okulya emmere etazimba mubiri kikonzibywa omwana ali mu lubuto.
 
Omutwe gunnuma buli kiseera ate nfuna n’ekikeeto nkole ntya? NY  
Bino oluusi bijja lwa kulya nnyo bintu birimu asidi n’aba mungi mu mubiri. Weewale ebyokulya ebirimu asidi omungi.

Musawo ebigere n’amagulu binzimba kiva ku ki, era nkole ntya? NJ
Kino kiva ku bintu eby’enjawulo omuli; Puleesa okuba waggulu oba ssukaali omungi mu musulo era bw’ofuna embeera eno laba omusawo mu bwangu
kuba oluusi kivaako okwesika.
Oluusi kiva ku kutuula nnyo omusaayi ne gulemwa okutambula obulungi mu mubiri naddala amagulu, okuyimirira ennyo nakyo kisobola okugazimbya.

Nnafuna kandida ng’olubuto lwa myezi ebbiri ne wiiki emu ne nfuna 0bujjanjabi naye agaanye okuwona. Taakwate mwana wange? MB
Kandida ava ku bujama n’embeera y’abakyala abeembuto okuba nti bafuna ebbugumu erisikiriza obuwuka obuleeta kandida  okubalumba amangu. Kirungi bw’ofuna  obuzibu buno olabe omusawo akuwe eddagala mu bwangu okutangira okusiiga omwana kuba bukwata.

Byakung’anyiziddwa Victoria Male ne Ruth Nazziwa.

Bwe nzimba mu bukazi nga nvaamu amasira, aba siriimu?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...