TOP

Emigaso egiri mu nsujju

Added 3rd February 2010

Ebikoola, ensigo n’ekibala byonna bya mugaso era biriibwa mu ngeri ez’enjawulo ne bireeta ebiriisa mu mubiri.   

Dr. Emmanuel Bukalu owa Zziwa Memmorial Medical Centre e Bweyogerere agamba nti omuntu eyeetaaga Vitamiini A kirungi okulya ebikoola, ensigo n’emmere y’ensujju kijj

Ebikoola, ensigo n’ekibala byonna bya mugaso era biriibwa mu ngeri ez’enjawulo ne bireeta ebiriisa mu mubiri.   

Dr. Emmanuel Bukalu owa Zziwa Memmorial Medical Centre e Bweyogerere agamba nti omuntu eyeetaaga Vitamiini A kirungi okulya ebikoola, ensigo n’emmere y’ensujju kijjuddemu.

Kiyamba okukuuma amaaso nga malamu n’okulwanyisa endwadde endala ng’olususu olufufunyadde.

Vitamini C asangibwamu akendeeza ku bulwadde bwa puleesa eya waggulu n’omutima. Ate ekirungo kya Vitamiini E  kitangira olususu okukosebwa omusana.

Erimu n’ekirungo kya Potassium ekigumya amagumba.  Ekiriisa ekya  Vitamiini D ekiyamba okuzuukusa obwongo ne bukola bulungi.
Erimu eminnyo egiyamba okukola omusaayi n’okugutambuza mu mubiri.

Eyamba n’okufulumya obucaafu mu lubuto. Etangira okweraliikirira. 

Obusigo bwayo buyamba okuzibukula enseke z’abasajja.

Era mulimu zinc ayamba okutangira enviiri okukutuka. 

Eriibwa n’ebikoola nabyo ebirimu ekiriisa kya Zinc nga bino tobisiika wabula obifumbira ku mmere.

Emigaso egiri mu nsujju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...