Ekikoofiira kino kitaasa mu biseera by’akabenje wabula singa tekirabirirwa bulungi nannyini pikipiki kisobola okusaasaanya endwadde.
Omusawo mu ddwaaliro ly’e Mulago Dr. Siraje Kizito Lumala, agamba nti ekikoofiira bwe kyambalwa omuntu alina obulwadde bw’olususu busobola okukwata omulala akikozesa nga tekisoose kuyonjebwa. Annyonnyola nti waliwo endwadde z’olususu ez’omutawaana ennyo ng’akafuba ne kookolo w’olususu, ng’omuntu bwe bumukwata n’atafuna bujjanjabi mu bwangu ayinza okufa.
Endwadde endala kuliko oluwumu, situka, olusolo, sumaama, wayirindi, ebiguuna n’endwadde endala.
Agamba nti eddagala nga Spirit, Iodine, Dettol, omwenge n’ebirala biyinza okukozesebwa aba bodaboda okusiimuula mu bikoofiira okutta obuwuka nga tebinnakozesebwa basaabaze balala.
Awa amagezi nti abasobola bagule ebikoofiira ebyobwannanyini bye baba bakozesa okwewala endwadde.
Engeri y’okutangira endwadde ezikwatira mu bikoofiira