TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Weekwate amata okukuuma olususu lw’omwana nga lulamu

Weekwate amata okukuuma olususu lw’omwana nga lulamu

Added 9th December 2009

Nnyina omuto Deziranta Mukalazi agamba nti, yazaalibwa olususu lulamu naye bwe yaweza emyezi 7 ne lutandika okufuna amagondogondo ne balowooza nti nnoga.

Agamba nti baamutwala e Mulago, abasawo ne bamwekebejja obulwadde ne bubabula.
Nambi agamba nti, ng’oggyeko okusiiyibwa n’aba

Nnyina omuto Deziranta Mukalazi agamba nti, yazaalibwa olususu lulamu naye bwe yaweza emyezi 7 ne lutandika okufuna amagondogondo ne balowooza nti nnoga.

Agamba nti baamutwala e Mulago, abasawo ne bamwekebejja obulwadde ne bubabula.
Nambi agamba nti, ng’oggyeko okusiiyibwa n’abaana okumuyeeya ku ssomero n’okulabika obubi talina buzibu bulala bw’afuna.

Dr. Kiyimba Kakungulu owa Ntinda Medical Centre agamba, endwadde z’ensusu mu baana nnyingi nga ziva ku bintu eby’enjawulo.

Muno mulimu ezireetebwa akawuka akayitibwa ‘Fangaasi’ akalya olususu n’okulwonoona ng’olwa Nambi bwe lufaanana.

Bukwata singa  omulwadde yeekuusa ku mulala n’okugabana ebikozesebwa ng’ebbenseni n’obuliri.
Obulwadde bwa kabootongo nabwo bwonoona olususu mu ngeri y’emu.

Kiyimba ayongerako nti, mu bantu abamu butambulira mu musaayi nga kyangu omukyala okuzaala omwana ng’abumusiigidde mu lubuto.

Kuno kw’ogotta akawuka akaleeta siriimu nako akalumba olususu.
Endwadde z’ensusu ezimu ziva ku bujama wabula nnyingi ziva ku ndya y’omukyala w’olubuto n’endiisa y’omwana ng’azaaliddwa.

Mu ndwadde zino mulimu; ebiyobyo, oluwumu, ebisente, ebiguuna, n’endala. Zonna zisobola okujjanjabwa.
Kirungi omwana okusooka n’akeberwa omusaayi ne bamanya ekituufu obulwadde kwe buva n’afuna eddagala.
Omukyala ali olubuto kirungi n’alya ebika by’emmere byonna ebiyamba okukuuma omubiri nga mulamu nga muno mwe muli n’olususu.

Era kw’olabira omwana alina ekizibu munda kwe kuba n’olususu olulwadde. Singa lukalakalana ne luggyako ebigalagamba n’okwesalasala, bwe lusiiwuuka ne luvaako n’evvu, bwe luleeta enkanyanya n’obubonero obulala bungi.
Emmere ekuuma olususu nga lulamu bulungi mulimu eyo erimu ekiriisa kya Vitamiini A ekisangibwa mu mata n’ebintu ebikolebwa mu mata nga kiyamba okuzza obupya obusimu obuzimba olususu.

Vitamiini C ne Vitamiini E ebisangibwa mu ovakedo, ebitungotungo, lumonde n’emmere endala biyamba okutangira olususu okukaddiwa.

Kaloti nazo nnungi ku mwana bw’azirya nga mbisi, n’ebibala ebirala byonna.
Asobola okuyamba Nambi mu ngeri yonna gy’osobola kuba ku nnamba ya ssimu 077 7 500 577.

Weekwate amata okukuuma olususu lw’omwana nga lulamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu