TOP

Kookolo w’amabeere

Added 14th October 2009

Omwezi gwa October gwassibwawo mu nsi yonna okulabula abantu ku bulwadde bwa kookolo.
Obulwadde bwa kookolo bwa bulabe nnyo era kyangu okukwata omuntu yenna ne bumutta bw’aba tafuddeeyo kwekebeza ndwadde na kujjanjabibwa.
Kookolo alimu ebika omuli ow’amabeere, owemimir

Omwezi gwa October gwassibwawo mu nsi yonna okulabula abantu ku bulwadde bwa kookolo.
Obulwadde bwa kookolo bwa bulabe nnyo era kyangu okukwata omuntu yenna ne bumutta bw’aba tafuddeeyo kwekebeza ndwadde na kujjanjabibwa.
Kookolo alimu ebika omuli ow’amabeere, owemimiro, owomu lubuto, owoolususu, owa nnabaana, ow’obusajja n’omulala.
Mu Uganda, kookolo w’amabeere akwata kya kusatu ku bika bya kookolo ebisinga okutta abakyala. Ono addirirwa kookolo wa nnabaana.
Mu nsi yonna omuwendo gw’abantu abafa kookolo gw’eyongedde okuva ku 11,100,000 abaali bafa mu myaka gya 1961 okutuuka ku 22,200,000. Kino kiva ku kuba nti abantu tebagenda kwekebeza kufuna mangu bujjanjabi. Bagenda okugenda mu ddwaaliro ng’amaze okusajjuka.
Mu Uganda, ebibiina bingi omuli ekya Palliative Association Care Uganda, Uganda Women’s Cancer Support Organization (UWOCASO), aba Makerere University Department of Obstetrics and gynecology n’ebirala bikoze kinene okulaba nga byongera okumanyisa abantu ku ndwadde eno era bibakubiriza okwekebeza buli mwaka. 
 Kkansa w’amabeere ebimuleeta si byangu kutegeera kyokka waliwo ebintu ebiraga omuntu alina emikisa emingi okumufuna. Ku bino kuliko;
l Okuba omukazi.
l Okuba mu myaka egigenderedde naddala mu 60 n’okugenda waggulu.
l Okuba n’ebyafaayo mu famire nga malimu eyalina kookolo.
l Okugenda mu nsonga ku myaka emito (wansi wa 12).
l Omukyala okulwawo okukoma okugenda mu nsonga (ku myaka 55 n’okugenda waggulu).
l Okunywa omwenge ne sigala ekisukkiridde. N’ebirala.
Omumyuka wa Pulezidenti Gilbert Bukenya mu kwogera kwe okwamusomeddwa minisita mu ofiisi ye James Baba ku mukolo gw’okutongoza omwezi gwa kookolo w’amabeere ogw’ensi yonna mu Uganda ogwabadde ku Africana Hotel mu Kampala yagambye nti buvunaanyizibwa bwa buli munnayuganda okubunyisa enjiri ku kookolo nti asobola okuwonyezebwa singa ofuna obujjanjabi mangu.
Dr. Amandua Jacinto okuva mu kitongole ky’ebyobulamu yagambye nti bataddewo enkola okulaba nga bongeza ku buyambi bwe bawa mu kujjanjaba kookolo kubanga yeeyongera buli mwaka ekyeraliikiriza eggwanga.
Dr. Gakwaya omukugu mu kulongoosa kookolo w’amabeere mu ddwaaliro ly’e Mulago, agamba nti abantu 36 ku buli  100,000 mu Uganda be bakwatibwa ekirwadde kino era ne bagenda mu ddwaaliro e Mulago ne mu malala amatonotono kyokka nga n’abalala abali mu bitundu gye batasobola kufuna bujjanjabi buno bafa tebategeerekese.
Yagambye nti wadde abasawo abakola ku bulwadde buno balina obusobozi bwonna okuwonya abo abagendayo nga bukyali, balina ebizibu ebirala ebibalemesa okutuusa obulungi obujjanjabi ku bantu nga muno mulimu;
Dr. Lule Mugisha okuva mu kitongole kya Cancer Institute e Mulago yagambye nti abaana abali wansi w’emyaka 9 abakwatibwa obulwadde buno beeyongedde era ng’abantu basaanidde okwongera okujjumbira okwekebeza.

Obubonero kw’olabira kookolo w’amabeere

l Obeera n’akantu akakaluba mu bbeere nga kalinga ensanjabavu.
l okukaluba kw’omubiri ogwetoolodde ennywanto okutali kwa bulijjo.
l ebbeere okuleeta olusaayisaayi mu nnywanto.
l ebbeere okugejja ne lisukka ku mbeera yaalyo eya bulijjo n’okukyuka mu kikula.
l ennywanto okukaluba ennyo okusinga ku mbeera yaayo eya bulijjo.
l ennywanto okwefunya.
l ennywanto okususumbukako obuntu mu ngeri etali ya bulijjo.
l ennywanto okuvaamu obuntu obulinga wuzi nga bw’obusikamu tebuggwayo. n’ebirala.
Obubonero buno singa olabako akamu tuukirira omusawo akukebere.
Bo abakyala abalongoosebwa kkansa ne bawona abeegattira mu kibiina kya UWOCASO bawadde obujulizi nga balaga nga bwe kisoboka okubeera omulamu singa wejjanjabisa kkansa nga tannasajjuka.
Kyombo Henry ye agamba “ Abavubuka nabo tebasaana kweyibaala kubanga obulwadde buno bwa buli omu. Nze mukwano gwange gwe nasoma naye e Makerere yafa nga yaakamaliriza. kookolo yamukwata kibumba era n’andekera ebbanja kutegeeza n’abalala nti atta ate abavubuka tulina n’okukomya omuze okulowooza nti endwadde ezimu za bakadde!”.
Kkansa bulwadde obusobola okuwonyezebwa era omwaka guno mu Uganda tutambulira ku mulamwa nti ‘okuzuula amangu n’okuziyiza kitaasa obulamu’.

Abafunye obujjanjabi
Getrude Nakigudde ‘Nnali nsoma mawulire nga nneevuunise nagenda okuwulira nga nnekoona ku kantu akalinga akawulungwa mu bbeere. Saakitwala ng’ekikulu era namala nako ebbanga lya mwaka nga sikajjanjaba kyokka bwe nagenda ew’omusawo mukwano gwange nandagira nneekebeze nekizuulibwa nga nnina kookolo w’ebbeere. Bannoongoosa era oluvannyuma lw’emyaka ebiri nazaala n’omwana gwe nayonsa obulungi era kati azannya. Kati nnina okwekebeza kulaba nga taddamu kunnumba.

Esther Okakara “Okumanya nti nnina kookolo w’amabeere nasooka kufiirwa muganda wange  obulwadde bwe bumu era waayita emyaka ebiri nange nendaba ebbeere lyange nga  lizimbye ne ne ngenda mu ddwaaliro. Bwe nnamanya, kyantiisa nnyo n’abantu bange era n’emirimu gyabwe mingi gyataataaganyizibwa nga bamanyi nti ng’enda kufa kyokka abasawo e Mulago ne banzijanjaba era kati emyaaka ndi mu musanvu nga nkola egyange.

Ssentebe w’ekibiina kino Specioza Kabwegyere agamba nti, “ Nze mmaze emyaka munaana nga nnongooseddwa kyokka sirina kye nkosebwa era ndi mulamu n’abantu bange basanyufu. Ekikulu kufaayo okwekebeza buli kiseera okuzuula embeera gyen dimu era n’okukebeza abantu bange baleme okufuna obuzibu”

Kookolo w’amabeere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...