Waliwo abasendebwa sendebwa emikwano ate abalala nga baagala kukkakkanya ku birowoozo bye balina n’abalala baagala kwesanyusaamu ne bannaabwe.
Ku bantu abanywa omwenge abamu teboosa nga tebanyeddeeko. Abakugu bagamba nti, omwenge oguyitiridde gwa bulabe eri obulamu bw’omuntu nga n’abamu gubasse.
Omukugu mu by’endiisa Dr. Edward Buzigi okuva mu kibiina ekirwanyisa endwadde mu bantu nga beeyambisa endya ekya, Live Uganda agamba nti, okumala g’ekatankira mwenge kivaako ebizibu nkumu.
Ebika by’omwenge ebitundibwa mu Uganda bingi era nga omuntu asobola okweroboza okusinziira ku busobozi bwe mu nsimbi n’ekika ky’ayagala. Omwenge ogutundibwa gutandikira ku 100/- n’okusukka emitwalo 20 okusinziira ku kika.
Omwenge guno buli gumu gulina obuka bwagwo. Singa ogunywa nga teweegeredde oyinza okufuna ebizibu nga okutamiirukuka ne weekola obusolo n’oswala mu bantu.
Okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa kiraga nti omuntu omwenge okumukwata kisinziira ku bintu eby’enjawulo.
l Obuka bw’omwenge, era obuka buno buwandiikiddwa ku macupa.
l Obuwanvu bwomuntu, nga omuwanvu gulwawo okumukwata okusinga omumpi.
l Obunene bw’omuntu, nga singa oba mutono gukukwata mangu
l Era kyazuulibwa nti abakazi gubakwata mangu okusinga abasajja.
Dr. Buzigi agamba nti, bw’oba onywedde omwenge ogwekigero kiba kirungi eri obulamu bwo.
Ekirungi ku mwenge
Gukola ng’eddagala, okuzza amaanyi mu mubiri, okuwagala ku bwongo, n’okukkakkanya ku birowoozo by’omuntu okumala akaseera akatono.
Omwenge ogw’ekigero guyamba okuziyiza omusaayi okwekwata ebitole, obulwadde bw’omutima kubanga gusala ku masavu mu mubiri. Omwenge omutono era guyamba omuntu obutafuna kizibu kyakusannyalala mubiri ne ssukaali.
Agamba nti omukyala asaanidde okunywa eggiraasi bbiri ez’omwenge olunaku ate omusajja ssatu zokka.
Wabula olina okugukozesa ku mateeka g’omusawo ng’ebimu ku by’ogoberera kwe kumala okulya emmere, okunywa ennyo amazzi n’okuwummula ekimala.
Singa ate omwenge oguyitiriza mu kifo kyokukuyamba obutalumbibwa ndwadde ate gukuleetera endwadde.Â
Obuzibu obuva ku mwenge     Â
Omunywi w’omwenge oyinza okufuuka lujuuju. Guyinza okulwaza obusiwa obutambuza obusimu mu mubiri, okulwaza ekibumba ne kookolo ow’enjawulo.
Bw’oba onywa omwenge ogususse teweeyibaala oyinza okulwala kookolo w’omu kamwa, omumiro ogutambuza emmere, owoolubuto, nnabaana, owamabeere, owoobusajja n’ekibumba.
Omwenge ogususse guyinza okukulwaza omutima, puleesa, okusannyalala omubiri, ssukaali n’endala nnyingi.
Omwenge guvaako n’obutabanguko mu maka. Abazadde abamu balemwa okuweerera n’okulabirira abaana baabwe nga ssente bazimalira mu mwenge. Oluusi obufumbo bufa nga omwami oba omukyala anywa nnyo.
Bw’otamiirukuka kiyinza okuvaako akabenje kubanga obwongo bwo bubeera tebukola bulungi.
Yayongeddeko nti abakyala abamu abali embuto bayoya nnyo omwenge. Ekintu kino kya bulabe ku mwana ali mu lubuto. Singa omukazi anywa omwenge ogusukkiridde ayinza okuzaala omwana nga tategeera bulungi nga omwenge gwakosa obwongo bwe.
Omwenge guyinza okuvaako omukyala okuzaala omwana atalaba bulungi era ng’alina n’ekizibu ku matu.
Omukyala ayinza okuvaamu olubuto oba okuzaala omwana atanatuuka oba nga mutono nnyo.
Yalabudde nti bw’oba onywa omwenge olina okulaba ng’olya emmere ezimba omubiri, ereeta amaanyi, okunywa ennyo amazzi n’okulya enva endiirwa
Omwenge