Ekyokubiri amajaani gakuyamba okutangira endwadde z’omutima ezimu wamu n’ebika bya kookolo ebimu.
Mu majaani mulimu ekiriisa ekiyitibwa ‘polyphenol’ ekiyambako ku butoffaali bw’omubiri gwo obutamala gafa.
Era singa buli lunaku onywa waakiri ebikopo by’amajaani amasaamusaamu, 3 oba 4 oyinza obutafuna ndwadde za mutima nga guno ogwewuuba mu bantu abamu. Anywa amajaani tatera kulwala mannyo.
Weereza ekibuuzo kyo eri Dr. emmanuel bukalu  owa zziwa medical centre ku 0752598188 oba 0414337194
Caayi omukalu annyamba ki?