TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekiwujjo ky’osuzaako kijja kukulwaza lubyamira

Ekiwujjo ky’osuzaako kijja kukulwaza lubyamira

Added 22nd July 2009

Abakugu bazudde nti wadde empewo nnungi ku bulamu bw’omuntu, naye ya bulabe nnyo singa ogyemanyiiza naddala ekiro nga weebase.

Dr. Willy Kato ow’omu ddwaaliro ly’e Ndejje  agamba nti ekiwujjo bw’okissaako n’okisemberera naddala bw’oba weebase, enfuufu ekibaamu eggweera mu

Abakugu bazudde nti wadde empewo nnungi ku bulamu bw’omuntu, naye ya bulabe nnyo singa ogyemanyiiza naddala ekiro nga weebase.

Dr. Willy Kato ow’omu ddwaaliro ly’e Ndejje  agamba nti ekiwujjo bw’okissaako n’okisemberera naddala bw’oba weebase, enfuufu ekibaamu eggweera mu mawuggwe go.

“Ekiro amadirisa n’enzigi bibeera bisibe, enfuufu ebulwa w’eyita, kale ekiwujjo bwe kigisunda egweera mu mawuggwe ga muntu n’alwala kookolo,” bw’agamba.

Dr. Kato agamba nti empewo ennyingi bw’esanga omulwadde wa alagye oba asima, bw’emuyingira mu mawuggwe gazimba n’afuna obuzibu.

Bw’oba n’emmere mu nnyumba n’otogibikkako bulungi, enfuufu bw’egiggweerako n’ogirya ku nkya oba olya bujama.

“Ate ekiwujjo tekikuwa mukka gwa bulamu bulungi nga bw’ogwetaaga, n’olwekyo togisuzaako kuba eyinza okukuzaalira ebitukula,” omukugu bw’annyonnyola.

N’olwekyo bw’oba oyagala okusuzaako ekiwujjo kyo, kakasa nti waliwo omuwaatwa empewo mw’eyita. Leka ng’eddirisa erimu oba gonna maggule obutalwala. Dr. Aballo Odongo agamba nti empewo  nnungi naye bw’eyitirira erwaza lubyamira.

Ekiwujjo ky’osuzaako kijja kukulwaza lubyamira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amuriat ng'ayogera n'abaserikale e Masindi.

Amuriat atabuse n'abaserika...

ABAWAGIZI ba akwatidde FDC bendera ku Bwapulezidenti Patrick Oboi Amuriat, abaagudde ku kabenje e Got Panyimur,...

Twambazemungu ng’alaga ebinyiriza ettaala by’akola.

Akola ebinyiriza ettaala z'...

CAROLINE Twambazemungu akozesa yintaneeti ne yeeyigiriza okuluka ebinyiriza ettaala z’omu nnyumba. Twambazemungu...

Bobi Wine ng'ali e Kagadi.

Ekya Sobi okulondoola Bobi ...

Sobi, omusajja ow'omutawaana ennyo ng'amannya ge amatuufu ye Paddy Sserunjogi, okulondoola Robert Kyagulanyi ‘Bobi...

Nabbi Omukazi Kayima

Nabbi Omukazi ayagala obuka...

OLUTALO lusituse ku byobugagga bya Pasita Augustine Yiga ‘Abizzaayo', Nabbi Omukazi bw'asitudde enkundi ng'ayagala...

Abamu ku bookya enkoko e Wandegeya nga balaga obukonge bwa Gabula Ssekukkulu bwe bajjuzza.

Abookya enkoko e Wandegeya ...

ABOOKYA enkoko e Wandegeya nga bakulembeddwa Mustafa Kafeero beebazizza kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde...