Yakozesanga eddagala lingi erikkakkanya obulumi oluvannyuma lw’okufuna obuzibu ku lususu lwe ng’agezaako okwekyusa langi.
Dr. Florence Bangoza owa Ecopharm Pharmacy e Makindye agamba nti waliwo ebika bingi eby’empeke eziweweeza ku bulumi. Waliwo Panadol, lbumex, Dicrofen, zeridol, Tramado, Asprine, Pethidine, modhine n’eddala lingi.
Tekibeera kirungi kumala gakozesa ddagala lino ng’omusawo takulagidde kubanga waliwo eriyinza okuba eryobulabe ku bulamu bwo.
Obulabe obuli mukumira empeke zino.
l Ezimu ku mpeke zino zirwaza ekibumba nga panadol bw’omumira ennyo ayinza okwokya ekibumba.
l Zikonya obulwadde nga omusujja ekivaako omulwadde omusujja okumugenda ku bwongo n’abeera nga atabuse omutwe.
l Abakyala abembuto tebateekeddwa kumira nnyo mpeke zino. Zireeta obuzibu obw’amaanyi ku mwana nga tannazaalibwa.
l Zirumya omutwe singa oba ozikozesa nnyo.
Zikuleetera okwelabira bw’oba ozikozesa nnyo.
l Empeke nga Asprin ne Ibuprofen zikendeeza ku bulamu bw’omuntu singa aba azikozesa nnyo.
l Zimalako omuntu emirembe ne zimuletera okwekyawa.
l Zirwaza obulwadde bw’omutima naddala diclofenaco, ibuprofen
l Zirumya amagumba ne zireeta ebizimba mu lubuto n’okutuuyana naddaala abalwadde ba kookolo.
l Ebika ebimu bw’obimira nga tonnalya kivaako okufuna obulwadde bwa alusa.
l Waliwo ebika nga ekya Tramado ebisinduukiriza emmeeme.
l Bw’oba obadde n’ekiwundu n’omira dicrofen okukkakkanya obulumi ate kiyinza okugaana okulekera awo okuggya omusaayi.
l Waliwo eddagala erimu omuntu lyayinza okumanyiira naba nga tasobola kubeerawo nga talimize nga liringa enjaga.
l Ebika ebimu biyinza okuvaako okusiiyibwa omubiri.
Ofuna kamunguluze n’amaaso obutalaba bulungi.
l Oluusi olubuto luyinza okwesiba oba okukaluubirirwa bw’obeera ofuka.
Eddagala erikkakkanya obulumi lya bulabe