TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eremesezza abatuuze okugoba munnaabwe ku kyalo

Poliisi eremesezza abatuuze okugoba munnaabwe ku kyalo

Added 26th March 2012

POLIISI eremesezza abatuuze ku kyalo Kasambya mu Ggombolola y’e Kassanda mu Disitulikiti y’e Mubende okugoba munnaabwe ku kyalo nga bamulumiriza okuba n’amayembe.

Bya Luke Kagiri

POLIISI eremesezza abatuuze ku kyalo Kasambya mu Ggombolola y’e Kassanda mu Disitulikiti y’e Mubende okugoba munnaabwe ku kyalo nga bamulumiriza okuba n’amayembe.

Baayise olukiiko olw’amangu nga baagala okugoba Joseph Ssekitoleko ku kyalo kino nga bagamba nti alina amayembe agabatigomya nga ne bannaabwe abamu bali ku ndiri.

Ssekitoleko yasooka kuwawaabira batuuze mu boobuyinza ng’abalanga okumuyita omulogo nti bamulumba n’awaka n’asaba ensonga zitunulwemu. Akulira poliisi y’e Kassanda, Dan Ampadde, yeetabye mu lukiiko luno n’asaba abatuuze bamukakase oba ddala Ssekitoleko alina amayembe kyokka ne balemwa okubaako kye balaga.

Ssekitoleko yakkirizza nga bw’alina ebyokoola kyokka n’agamba nti ye musawo wa kinnansi era talina muntu gw’aloga. Ampadde yabuuzizza abalina abantu baabwe abaalwala, olwo omuvubuka Musa Ssali n’avaayo n’ategeeza nga maama we Teo Namatta bwe yakwatibwa ebintu bye yayise amayembe bye baabagamba nti biva wa Ssekitoleko. Kyokka tewaabadde muntu mulala alina mulwadde yenna.

Abatuuze baayise omusawo w’ekinnansi, Salongo Edward Buyoga atwala essaza lya Kassanda nga baagala ayaze ewa Ssekitoleko, okukakasa ebyokoola by’alina kyokka naye poliisi n’emugaana ng’egamba nti alabika mukwano gwa Ssekitoleko kuba amanyiddwa mu kitundu.

Ssentebe w’ekyalo kino, Augustine Ngoobi, yategeezezza nti, ‘ensonga z’abatuuze zibadde zisusse ku ofiisi yange nga zirina okweyongerayo mu bakulembeze aba waggulu.

’ Wabula abatuuze baasigadde bagamba nti Ssekitoleko alina okuva ku kyalo. Ampadde yalabudde abatuuze baleme kutwalira mateeka mu ngalo n’abagaana n’okugoba munnaabwe ku kyalo.

Baasazeewo okufuna omusawo omulala okujja ayaze ekyalo, era wanoSsekitoleko n’asuubiza nti ye omusawo anajja, ku nsimbi ez’okumuweebwa agenda kusondako emitwalo 25. Wabula poliisi erabudde abatuuze okukomya okulowooleza mu malogo.

Poliisi eremesezza abatuuze okugoba munnaabwe ku kyalo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...