TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Disitulikiti y'e Mityana bakkaanyizza n'aba takisi

Aba Disitulikiti y'e Mityana bakkaanyizza n'aba takisi

Added 16th July 2012

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Mityana baludde ddaaki ne bakkaanya n’aba takisi, ababadde beemulugunya ng’omukozi waabwe bwe yayuza ebiwandiiko byabwe.

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Mityana baludde ddaaki ne bakkaanya n’aba takisi, ababadde beemulugunya ng’omukozi waabwe bwe yayuza ebiwandiiko byabwe.

Aba takisi beekalakaasa gye buvuddeko nga bagamba nti bwe baali batutteyo okusaba kwabwe okuweebwa ttenda ey’okuddukanya paaka, akulira akakiiko akazigaba, Doreen Nabbosa yayuzaamu ekimu ku biwandiiko byabwe.

Kyokka akulira abakozi, Anthony Yiga yategeezezza Bukedde nti yafunye obujulizi okuva ku njuyi zombi era olupapula olwali luyuziddwa ne luddizibwamu.

“Kituufu olupapula olumu lwayuzibwa naye tekyali mu bugenderevu. Luziddwamu era ensonga zigenda kuggwa,” Yiga bwe yagambye.

Emivuyo mu paaka ya takisi e Mityana girudde ng’ekitongole kya UTODA kye kyasooka okugobwa olwo ttenda n’eweebwa kkampuni ya MAMCO eyali ekoleddwa baddereeva.

Wabula mu December w’omwaka oguwedde baddereeva baagoba MAMCO ne bakola ekibiina ekyabwe ekya AMITDAC nga kati kye kibadde ne ttenda okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe yazzeemu okulangibwa, MAMCO n’etwalayo okusaba kwayo.

Aba Disitulikiti y’e Mityana bakkaanyizza n’aba takisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...