TOP

Basabye Palamenti ekkirize Mubende ekutulwemu

Added 12th November 2012

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Mubende bazzeemu okulaajanira Gavumenti ekutule mu disitulikiti, wagunjibwewo endala bbiri nga bagamba nti esusse obunene.

Bya Luke Kagiri

ABAKULEMBEZE ba Disitulikiti y’e Mubende bazzeemu okulaajanira Gavumenti ekutule mu disitulikiti, wagunjibwewo endala bbiri nga bagamba nti esusse obunene.

Baategeezezza nti balemereddwa okutuusa obulungi obuweereza ku bantu olw’obunene bwa disitulikiti n’omuwendo gw’abantu ogweyongera buli lukya.

Bino baabituseeko ku mukolo Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga kwe yatongolezza ekibiina ky’abalimi ekya, ‘Kassanda Farmers Development Association,’ ogwabadde mu maka g’omubaka wa palamenti owa Kassanda North, Godfrey Lubega e Kyamulinga.

Ssentebe wa LC 5, Francis Kibuuka Amooti yafukamidde n’asaba sipiika n’amusaba nti palamenti ekkirize disitulikiti eno ekutulwemu.

“Tusaba Kassanda ne Kasambya bifuuke disitulikiti kubanga obunene bususse. Kino tuludde nga tukisaba ne Pulezidenti yakitusuubiza naye twewuunya lwaki kiruddewo,” bwe yagambye.

Ababaka ba palamenti okwabadde, Muky. Benah Bugembe, owa Buwekula, Tonny Ssemuli ne Lubega nabo baasabye palamenti ekkirize ensonga eno.

Kadaga mu kwanukula yasuubizza nti singa ekiteeso kituuka mu palamenti agenda kukiwagira.

Abalimi abenjawulo baayolesezza ebirime byabwe n’ebintu ebirala. 

Basabye Palamenti ekkirize Mubende ekutulwemu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.