
Bya KIZITO MUSOKE
ABAZADDE b’essomero lya Mpumudde Umea Primary School bakukkulumidde Gavumenti olw’okulagajjalira essomero lyabwe ne balemwa okubazimbira ebizimbe awamu n’okuteeka entebe abaana kwe batuula mu ssomero, bye bagamba nti bye bimu ku biremerezza abaana okuyita ebigezo bya PLE.
Akulira olukiiko olufuzi olw’essomero, Yusuf Mulindwa yategeezezza nti essomero lyabwe lyatandikibwawo mu 1991, kyokka mu 2004 ne balikwasa Gavumenti eriddukanye.
“Bukya bakwasa Gavumenti ssomero tefangayo wadde okuzimba ekizimbe n’ekimu oba okuguliramu entebe. Kuno gattako okutawaanyizibwa omugagga eyeeyita nnannyini ttaka. Gavumenti tetuyambye,” Mulindwa bwe yagambye.
Abazadde bwe balabye tebafuna buyambi, kwe kusalawo okwekolamu omulimu ne beezimbira ekizimbe ku ssomero. Ekizimbe kino kiriko ofiisi y’omukulu w’essomero ne n’ebibiina bibiri. Kyokka omulimu gw’okumaliriza ekizimbe gukyabulako obukadde butaano, bwe basaba abazirakisa okubadduukirira.
Ssentebe wa disitulikiti, Barbra Kyazike Kinobe yategeezezza nti essomero lino bulijjo obutafuna buyambi, kibadde kiva ku nkaayana za ttaka essomero lino kweriri.
Yagasseeko nti omwaka oguwedde essomero lye limu lyaweebwa obuyambi okuva ku disitulikiti, kyokka baawalirizibwa okubukyusa ne babuwa essomero Kasangula Primary School, nga nalyo liri mu ggombolola y’emu.
Wabula Kinobe yasuubizza nti mu kiseera kino abakulira essomero lino baaleese ebiwandiiko ku disitulikiti ebikakasa ng’enkaayana bwe zaagonjoddwa era n’asuubiza nti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, bajja kufuna obuyambi.
Essomero lino eriri mu ggombolola y’e Namungo, lirimu abayizi 283, era nga mu bigezo bya PLE eby’omwaka 2012, essomero teryafuna mwan n’omu ayitira mu ddaala lisooka.
Bakukkulumidde Gavt. obutalabirira ssomero