TOP

Ab'e Malangala bakaaba olw'amazzi amacaafu

Added 1st April 2013

ABATUUZE b’e Mityana mu gGombolola y’e Malangala batabukidde ssentebe waabwe nga baagala abannyonnyole lwaki nayikondo ezaabaweebwa Gavumenti tezikola ssaako enguudo mu byalo okuwomoggoka ng’ebyuma ebizikola byaweebwa disitulikiti.



Bya   Samuel Balagadde

ABATUUZE b’e Mityana mu gGombolola y’e Malangala batabukidde ssentebe waabwe nga baagala abannyonnyole lwaki nayikondo ezaabaweebwa Gavumenti tezikola  ssaako enguudo  mu byalo okuwomoggoka ng’ebyuma ebizikola byaweebwa disitulikiti.

Bagamba nti baava ku nzizi ze baali bakozesa oluvannyuma lwa Gavumenti okubawa nayikondo wabula kumpi zonna tezikyakola.

“Enzizi zaffe ez’ensulo wadde zaali zivaamu amazzi amacaafu zaatubeezangawo okusinga kati kyokka olw’okuba twazivaako, ezimu  zaakalira olw’obutafiibwako,” Deo Nyanzi  ow’ebyokwerinda  ku kyalo Ntonyeze mu muluka gw’e Kiwawulu bwe yategeezezza mu lukiiko lw’ekyalo, wiiki ewedde.

Kansala w’omuluka gw’e Zigoti, Richard Ziraye yagambye nti abatuuze bandifuna endwadde eziva ku mazzi amacaafu  kuba awamu  enzizi ze beeyambisa n’ente mwe zinywa.

Abatuuze era baalaze obutali bumativu olw’embeera y’enguudo embi mu byalo kyokka nga Gavumenti yawa disitulikiti ebyuma ebikola enguudo.

Wabula ssentebe w’eggombolola eno, Mande Buwembo  yagambye nti obuzibu buvudde ku butali bwesimbu obuli mu bamu ku bakulembeze ku disitulikiti.

Yakuutidde abatuuze okwelongooseza  amakubo agamu mu byalo mu nkola ya bulungibwansi.

Ab’e Malangala bakaaba olw’amazzi amacaafu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...