TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abajjanjabi baweereddwa obugaali okugaba eddagala ly'omusujja

Abajjanjabi baweereddwa obugaali okugaba eddagala ly'omusujja

Added 7th April 2014

Mu kaweefubwe w’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga, Gavumenti egabidde abajjanjabi ba nnakyewa ku byalo obugaali okweyambisa okugaba eddagala n’okulambula abo ababa baliweereddwa.



Bya Samuel Balagadde

Mu kaweefubwe w’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ggwanga, Gavumenti egabidde abajjanjabi ba nnakyewa ku byalo obugaali okweyambisa okugaba eddagala n’okulambula abo ababa baliweereddwa.

Obugaali 47 bwe bwagabiddwa eri abajjanjabi bannakyewa okuva mu miruka etaano mu ggombolola y’e Malangala mu Disitulikiti y’e Mityana nga muno mulimu ogw’e Zigoti, Magonga, Kanyanya, Kiwawu ne Namuli.

Obugaali buno bwakwasiddwa abajjanjabi ku ggombolola y’e Malangala ku Lwokuna era abaabuweereddwa ne bakuutirwa obutabweyambisa mu mirimu egitali egyo egyabubaweesezza.

Mande Buwembo ssentebe w’eggombolola y’e Malangala mu Mityana yagambye nti abantu mu kitundu kino babadde batawanyizibwa endwadde z’omusujja naddala mu biseera bino enkuba mw’efudembera.

“Gavumenti okuvaayo okudduukirira abantu ba wansi abatalina busobozi bwa nsimbi naddala mu bintu ebisinga okubatawaanya omuli endwadde z’omusujja kabonero akalaga nti efaayo,” Buwembo bwe yategeezezza.

Yagambye nti abantu bangi mu kitundu tebalina busobozi bwa nsimbi okutuuka mu malwaliro okufuna obujjanjabi ate ng’abalala bakyalimu obutamanya nga balowooza nti bagenda kweyambisa ddagala lya kinnansi lyokka.

Abajjanjabi baweereddwa obugaali okugaba eddagala ly’omusujja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...