TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala ekya sipiika e Mityana batuula bufoofofo

Abaagala ekya sipiika e Mityana batuula bufoofofo

Added 28th April 2014

Oluvannyuma lwa kkooti okulagira abadde sipiika wa disitulikiti y’e Mityana okuva mu ntebe, okunoonya sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti kutandise na bbugumu.



Bya Luke Kagiri
Oluvannyuma lwa kkooti okulagira abadde sipiika wa disitulikiti y’e Mityana okuva mu ntebe, okunoonya sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti kutandise na bbugumu.

Aloysius Sserumaga nga mmemba wa NRM abadde kansala akiikirira eggombolola y’e Butayunja ku lukiiko lwa disitulikiti ye yagobeddwa kkooti mu kifo kino ku bigambibwa nti yalondebwa mu bukyamu.

Sserumaga era yalondebwa nga sipiika mu lukiiko luno.

Kyaddiridde munne bwe baali bavuganya, Daniel Ssemuyaba okuloopa Sserumaga nti yali abbye obululu era n’aloopa mu kkooti e Mityana eyasazeewo ave mu kifo kino, olwo n’ekifo ky’obwasipiika ne kisigala nga kikalu.

Wabula bakansala abawera ku lukiiko lwa disitulikiti olwawulidde bino ne batandika okwesunga ekifo kino era wiiki ewedde baabadde baagala balonde Sipiika omuggya kyokka ne kitasoboka.

Akulira abakozi mu disitulikiti CAO, Anthony Yiga yategeezezza nga bwe yabadde akyalinda ebbaluwa entongole eva mu kkooti olwo alyoke ate-geke okulonda sipiika omuggya.

Wabula ne Ba kansala, munnaabwe eyagobeddwa baamuganye okuddamu okulinnya mu lukiiko lwa disitulikiti yadde nga baabadde tebannafuna kiragiro kiva mu kkooti.

Bakansala abaagala ekifo kya Sipiika kuliko; Allan Nshimye, Richard Lumu, Kizito Musoke, Ibrahim Kateregga, Emmanuel Munye.

Okulonda kuno kusuubirwa okubeerawo mu lutuula oluddako era lwe basuubira okukakasa embalirira ya disitulikiti gye baasomye wiiki ewedde.

Abaagala ekya sipiika e Mityana batuula bufoofofo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...