TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bayungudde abasawo e Mityana okwekebejja eby'obulwadde bw'ennamba

Bayungudde abasawo e Mityana okwekebejja eby'obulwadde bw'ennamba

Added 28th April 2014

Abakulembeze ba disitulikiti y’e Mityana bayungudde ekibinja ky’abasawo abakugu okutalaaga ebyalo nga beekenneenya abantu abagambibwa okukubwa ennamba ku mibiri gyabwe.



Bya Luke Kagiri

Abakulembeze ba disitulikiti y’e Mityana bayungudde ekibinja ky’abasawo abakugu okutalaaga ebyalo nga beekenneenya abantu abagambibwa okukubwa ennamba ku mibiri gyabwe.

Wateekeddwaawo n’ekifo ekyenjawulo mu ddwaaliro lya Gavumenti e Mityana, abasangibwa
n’ennamba zino we batwalibwa okukolwako.

Abasawo bano baakulembeddwaamu akulira okunoonyereza ku ndwadde ezeenjawulo mu disitulikiti, Dennis Mono. Ssentebe wa disitulikiti eno, Deborah Kyazike Kinobe, eyatuuseeko mu ggombolola y’e
Malangala okulaba abantu abakubwa ennamba yategeezezza nti baakulondoola obulwadde
buno okuzuula kwe buva.

Edward Muganga omwogezi wa disitulikiti eno yategeezezza nti bamaze okufuna omusaayi okuva ku bantu bataano ogwaweerezeddwa e Ntebe okukeberebwa bazuule ekituufu.

Wabula abatuuze balumiriza nti obulwadde buno bwandiba nga bwaleetebwa abasawo b’ekinnansi nga baagala okufunirako ssente nga babuvumula.

Ssentebe wa Buwalula B, Samuel Nkata yagambye nti bagenda kulondoola engeri abantu gye bafunamu abasawo ababuvumula. Ate Juma Kizito, sipiika w’olukiiko lwa ggombolola
y’e Malangala yagambye nti bagenda kunoonyereza ku basawo bonna abali mu kitundu.

Bayungudde abasawo e Mityana okwekebejja eby’obulwadde bw’ennamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...