TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Disitulikiti y'e Mityana ebuliddwa limbo, emirambo givundira mu ggwanika.

Disitulikiti y'e Mityana ebuliddwa limbo, emirambo givundira mu ggwanika.

Added 2nd June 2014

Abakulembeze ba Mityana Town Council, abasawo awamu ne poliisi bali mu kattu, oluvannyuma lw’okubulwa ekifo eky’okuziikamu abantu abafa ne babulako eng’anda zaabwe.

Bya Luke Kagiri

Abakulembeze ba Mityana Town Council, abasawo awamu ne poliisi bali mu kattu, oluvannyuma lw’okubulwa ekifo eky’okuziikamu abantu abafa ne babulako eng’anda zaabwe.

Kino kiddiridde Abachina abazimba eddwaaliro ly’e Mityana okutwala ekifo ekyalimu limbo nga kati we
bayiwa ettaka erisimibwa mu kifo awazimbibwa eddwaaliro.
Okusooka, abatwala eddwaaliro lino baategeeza nga bwe baali bategeereganye n’abakulira Mityana Town Council ne bakkaanya nti limbo esengulwe ezzibwe e Kigenge ku ddwaaliro era mu April, emirambo egimu gyasimwawo ne gitwalibwa.
Wabula kigambibwa nti waliwo abakulembeze b’essaza ly’e Ssingo abaagaanyi aba kkanso okuddamu okuziika abantu ku ttaka ly’eddwaaliro lino, kubanga lya Ssaabasajja.

Kino kigenze okubeerawo nga Mukwenda wa Ssingo yaakayisa amateeka amakakali ku ttaka ly’embuga lyonna nga ne wiiki
ewedde aliko abantu be yagobye ku mbuga y’essaza.
BALAAJANYE

Mu lukiiko lwa ba kansala olwatudde ku mbuga y’essaza e Mityana, Town Clerk wa Mityana Gonzaga Ssebulime,yategeezezza nga bwe waliwo ababagaanyi okuddamu okuziika ku ttaka ly’eKigenge b’ataayatuukirizza.
Yasabye olukiiko luyise ensimbi ez’okugula ettaka ery’okussaako limbo era n’ez’okuziikanga abantu abatalina ba ng’anda ababa bafudde n’asaba kino kikolebwe mu bwangu kubanga emirambo givundira mu ggwanika.Disitulikiti y’e Mityana ebuliddwa limbo Emirambo givundira mu ggwanika
POLIISI EBATWALA MULAGO

Okuva mu April omulimu gw’okuzimba eddwaaliro lwe gwatandika,eggwanika eryaliwo lyamenyebwa ne limbo n’ejjululwa

.Eggwanika lyazzibwa mu kifo kirala kyokka nga wafunda era kati poliisi bw’efuna omulambo gw’omuntu abuliddwaako enganda egutwala mu ggwanika e Mulago. Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Henry Kintu yagambye nti buvunaanyizibwa bw poliisi okuggya omulambo ku kkubo naye kkanso y’erina okuguziika. Ab’obuton de bw ’ensi balabu dde Yassin Bbira, akulira obutonde bw’ensi ku disitulikiti, yagambye nti okuggyawo limbo yali nsobi kubanga ettaka eriyiibwawo litandise okuziika olutobazzi.

Yagambye nti yawandiikidde Abachina abazimba eddwaaliro n’abalabula ku kuziika olutobazzi luno, kubanga amazzi gonna agava mu tawuni gakung’anira mu kifo kino. Wabula Abachina baategeezezza nga bwe balina entegeka okuyoolawo ettaka nga bamaze okuzimba.

Disitulikiti y’e Mityana ebuliddwa limbo, emirambo givundira mu ggwanika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...