TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde banaasomesebwa obuvunaanyizibwa ku baana

Abazadde banaasomesebwa obuvunaanyizibwa ku baana

Added 9th June 2014

DISITULIKITI y’e Mityana ng’eyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu etandise kaweefube w’okutangira okufumbiza abaana abato, okumalawo okubakabawaza, okukendeeza okubatulugunya, okubaggya mu masomero n’engeri endala ezityoboola eddembe ly’abaana.



Bya  Samuel Balagadde   

DISITULIKITI y’e Mityana ng’eyita mu minisitule y’ekikula ky’abantu etandise kaweefube w’okutangira  okufumbiza abaana abato, okumalawo  okubakabawaza, okukendeeza okubatulugunya, okubaggya mu masomero  n’engeri endala ezityoboola eddembe ly’abaana.

Kiddiridde okunoonyereza okwakolebwa  Disitulikiti y’e Mityana ne kizuulibwa ng’emize  gy’okutyoboola eddembe ly’abaana  naddala mu bitundu ebiri ku lubalama lw’ennyanja Wamala,  mu ggombolola y’e Malangala n’awalala byeyongedde.

Rosemary Nazzimbe akola    ku nsonga z’abaana  n’embeera z’abantu ku disitulikiti y’e Mityana  yagambye nti   kino kyawalirizza disituliti okutandika okusomesa abantu ku  magombolola mu ngeri y’ekikugu gye bagenda okweyambisa okusobola okutuukirira abazadde mu maka omuli abaana  abalina obuzibu  omuli n’abo abayinza okuba nga beewaggudde.

Yagambye nti emisomo gino gyatandikidde mu ggombolola y’e Busimbi, Maanyi, Bulera ne Malangala nga buli ggombolola eriko abantu 30 abatendekeddwa mu nteekateeka eno.

Nazzimbe  mu kuggalawo omusomo gw’okutendeka  ekibinja ky’abantu 30  ku kitebe ky’eggombolola y’e Malangala wiiki ewedde yagambye nti  buli mutuuze ku kitundu avunaanyizibwa kyenkanyi ku bikolwa by’okutyoboola eddembe ly’abaana ng’aloopa oyo aba asangiddwa ng’atulugunya omwana.

“Abaana babinikibwa emirimu egy’amaanyi  omuli okusitula ebidomola by’amazzi ebinene nga bakyali bato, babafumbiza bato, bakabawazibwa  mu lujjudde n’ebirala ng’abantu balaba kyokka ne beesuulirayo gwa nnaggamba,” Nazzimbe bwe yagambye.

 

Abazadde banaasomesebwa obuvunaanyizibwa ku baana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

MOHAMMED Ssegirinya ayimbud...

MOHAMMED Ssegirinya bamuyimbidde mu kkomera e Nalufeenya gy'amaze ennaku mukaaga bwe yakwatibwa ng'awa amawlire...

Walukagga bamugguddeko emis...

POLIISI eggudde emisango ebiri ku Mathias Walukagga omuli okukozesa erinnya lye okukunga abantu okwekalakasa ku...

Dr. Katebalirwe Amooti.

AKAKIIKO K'EDDEMBE LY'OBUNT...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Looya Kityo.

Looya Kityo ne mukazi we ba...

MUNNAMATEEKA w'Ekika ky'Ekkobe bamubikidde mukyalawe nti afudde naye n'akutuka. John Fredrick Kityo, eyatandikawo...

Ttiyaggaasi ng'anyooka.

Ttiyaggaasi anyooka e Kyege...

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, okunoonya akalulu e Kyenjojo, Kyegegwa ne Fort Portal tekunnaba kumutambulira bulungi...