TOP

Bajeti ya Mityana ya buwumbi 21

Added 9th June 2014

DISITULIKITI y’e Mityana eyisizza bajeti y’omwaka 2014/ 15 nga ya buwumbi 21 n’obukadde 740.





Bya Kizito Musoke ne Luke Kagiri

DISITULIKITI y’e Mityana eyisizza bajeti y’omwaka 2014/ 15 nga ya buwumbi 21 n’obukadde 740.

Avunaanyizibwa ku by’ensimbi era omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti, Israel Lubega Maaso yategeezezza nti ku ssente ezo ebitundu 98 ku buli 100, zisuubirwa kuva mu Gavumenti ya wakati awamu n’ebibiina ebigaba obuyambi. Olwo ebitundu bibiri ku buli 100 zive mu misolo egisoloozebwa mu disitulikiti.

Ebyenjigiriza bye bisinza omutemwa omunene nga bya kumalawo obuwumbi 11 n’omusobyo, eby’obulamu, obuwumbi buna ate eby’obulimi akawumbi kamu n’ezigwamu.

Enguudo teziteereddwaako mutemwa gwonna, abantu kye bagamba nti kikyamu kuba ze zisinga okubakosa mu kitundu.

Ate aba Mityana Town Council baayisizza embalirira nga yaakumalawo  akawumbi kamu n’obukadde obusukka mu 400. 

Bajeti eno etafudde ku nguudo yayogezza abatuuze ebisongovu nga bagamba nti abakulembeze baabwe babeerabidde kubanga bino bye bizibu ebibadde bisinga okubaluma.

Ku lukiiko lwa disitulikiti bakansala baasazeewo nti nga disitulikiti etwale ensonga za Mityana Town Council kubanga abagiddukanya balemeddwa okukola ku bizibu by’amakubo n’obuyonjo.

Baalagidde ssentebe waabwe, Deborah Kyazike Kinobe alondoole ensonga zino okulaba nga wabaawo enkyukakyuka.

Kinobe yagumizza abatuuze nti waliwo amakubo agagenda okukolebwa nga bakozesa tulakita za disitulikiti ate amalala gagenda kukolebwa n’ensimbi eziva mu Gavumenti.

Abatuuze abaayogeddeko ne Bukedde baasabye Gavumenti nti bw’eba esoma embalirira ey’omwaka ogujja eyongere okuwa amakubo ensimbi kisobozese okutumbula eby’enfuna.

Omwaka gw’ebyensimbi oguweddeko, disitulikiti yakola bajeti ya buwumbi 21,408,376,000, kyokka nga baasobola kukung’anyaako 21,150,240,157.

Abakulembeze baakubirizza abantu okujjumbira okuwa emisolo, kyanguyize ne disitulikiti okubatuusaako obuweereza obulungi.

 

Bajeti ya Mityana ya buwumbi 21

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...