TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Disitulikiti y'e Mityana efunye obukadde 231 ez'okuzzaawo ennyanja Wamala

Disitulikiti y'e Mityana efunye obukadde 231 ez'okuzzaawo ennyanja Wamala

Added 16th June 2014

GAVUMENTI ya Uganda ng’eyita mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde edduukiridde disitulikiti y’e Mityana n’ensimbi obukadde 231 ku 500 ezaasuubizibwa, okusobola okutaasa ennyanja Wamala, mu kaweefube w’okutangira okukozesa entobazzi.



 Bya Kizito Musoke  ne Luke Kagiri  

GAVUMENTI ya Uganda ng’eyita mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde edduukiridde disitulikiti y’e Mityana n’ensimbi obukadde 231 ku 500 ezaasuubizibwa, okusobola okutaasa ennyanja Wamala, mu kaweefube w’okutangira okukozesa entobazzi.                                         

Okusinziira ku atwala ebyobutonde mu disitulikiti, Yasin Bbira, ssente zino baamaze  dda okuzigabanya mu bibiina ebyenjawulo, ebigenda okwenyigira mu mulimu guno. Ebibiina bino biri mu magombolola agaliraanye ennyanja Wamala okuli Busimbi, Banda ne Maanyi nga kuliko ekya BOGA (Bukanaga Orange Drowers Association) ekiri mu ggombolola y’e Busimbi awamu ne LWECOTEP ekiri mu ggombolola y’e Bbanda.

Kino we kijjidde ng’abatuuze bangi abaliraanye entobazzi bazirimiddemu kasooli ne kalittunsi, naddala mu bitundu nga Lubajja mu ggombolola y’e Maanyi, Katiko ekiri e Busimbi ne Lusaalira ekiri e Banda.

  Bbira yategeezezza nti ssente zino ziri wansi w’enkola ya Gavumenti emanyiddwa nga “Lake Victoria Environmental Management Project,” ng’eruubirirwamu okulaba ng’abantu abakolera mu ntobazzi babatandikirawo emirimu emirala ne bava mu ntobazzi.

   Mu bintu bye bagenda okukola mulimu okuyigiriza abantu okutereka amazzi, okuyigiriza abaliraanye ennyanja emirimu emirala, okukuuma obugimu mu ttaka n’okuddamu okukuuma entobazzi ezibadde zisaanyeewo.

Abantu era baakusomesebwa okulunda ebyennyanja nga bakozesa ebintu ng’ebidiba awamu ne mu mapipa, okusinga okulindanga obulinzi okubirya nga babiggye mu nnyanja.                                         

Bbira yennyamidde olw’embeera embi, ennyanja gy’erimu nga mu kiseera kino eyali eyiwa ku mugga Katonga ogugigatta ku nnyanja Nalubaale, tekyayiwayo mazzi, olw’okukalira, olw’enkozesa embi. Yawadde Gavumenti amagezi okufuna ssente eriyirire abantu bonna abalina ettaka mu bitundu omuli entobazzi, kibasobozese okulikuuma obulungi. 

Avunaanyizibwa ku mbeera y’entobazzi ku lukiiko olufuzi olwa disitulikiti, Geoffrey Seruwagi yasiimye Gavumenti olw’obuyambi n’ategeeza nti bujja kubayamba nnyo mu kumanyisa n’okusengula abamu ku bantu ababadde beefunyiridde mu kulimira mu ntobazzi.

 

Disitulikiti y’e Mityana efunye obukadde 231 ez’okuzzaawo ennyanja Wamala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...

Bobi Wine ng'ali e Kyegegwa.

Nja kumalawo ekibbattaka mu...

MAJ. Gen. Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT) asuubizza okumalawo ekizibu ky'ekibba ttaka...