TOP

Ennyonyi y''amagye eggude ku lw''e Mityana

Added 18th July 2014

ENTAMBULA esaanyaladde ku luguudo lw’e Mityana okumala akaseera ennyonyi y’amagye ebadde egenda e Ntebe bw’eggudde mu luguudo wakati.



Bya Margaret Ziribaggwa ne Martin Ndijjo
 

ENTAMBULA esaanyaladde ku luguudo lw’e Mityana okumala akaseera ennyonyi y’amagye ebadde egenda e Ntebe bw’eggudde mu luguudo wakati.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ennyonyi eno yasimbudde okuva e Ntebe ng’egenda e South Sudan, kyokka abakola ku by’entambula z’ennyonyi ne babategeeza ng’embeera y’obudde bw’eteri nnungi, kwe kusalawo baddeyo e Ntebe.

Omugoba w'ennyonyi asobodde okugisuula mu luguudo

Omugoba waayo yasazeewo okukyusa addeyo ku kisaawe e Ntebe kyokka bwalabaye ng’amafuta gakendedde tegamusobozesa kutuuka Ntebe kwekusalawo okuyimiriza ennyonyi e Kiwawu ku luguudo lw’e Mityana.

Enanga yagambye nti abantu omunaana abaabadde mu nnyonyi eno entono tebatuusiddwaako mutawaana gwonna okuva omugoba waayo bwabadde omukugu.

Ayongeddeko nti poliisi n’abakola ku by’entambula y’ennyonyi banguye okutuuka embeera n’edda mu nteeko.

 

Ennyonyi y''amagye eggude ku lw''e Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...

Bobi Wine ng'ali e Kyegegwa.

Nja kumalawo ekibbattaka mu...

MAJ. Gen. Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT) asuubizza okumalawo ekizibu ky'ekibba ttaka...