TOP

Essanyu n'amaziga ku nnyonyi y'e Mityana

Added 28th July 2014

ABAMANYI okuyiiya ensi abaateegedde e Kiwawu awaagudde ennyonyi ku lw’e Mityana kati bali mu kunoga nsimbi abookya akanyama baasonze dda, atunda ebinyeebwa by’empogola akeera mu kifo n’aba bodaboda olugendo balukubisizzaamu.



 

 
Bya Luke Kagiri, Samuel Balagadde ne Herbert Musoke

 

ABAMANYI okuyiiya ensi abaateegedde e Kiwawu awaagudde ennyonyi ku lw’e Mityana kati bali mu kunoga nsimbi abookya akanyama baasonze dda, atunda ebinyeebwa by’empogola akeera mu kifo n’aba bodaboda olugendo balukubisizzaamu.

 

 
Omuntu atamanyi Kiwawu bw’alinnya takisi n’emuteeka mu buduuka, owa bodaboda amubuuza mangu oba agenda ku nnyonyi era akagendo babadde bakavugira 500/- naye abantu bwe beeyongeddeko ne balinnyisa okudda ku 1,000/-.
 
Ayokya ennyama omusito agutunda 1,000/ ne 2,000/- kyokka abakuba ebifaananyi bali ku mugano nga gwa nswa. Ayagala okukifunirawo bakimuguza 2,000/- abalala 3,000/- n’avaawo ng’afunye obujulizi bw’anaalaga ab’eka nti yatuuse ku nnyonyi.
 
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbuuka z’ennyonyi (CAA) kyategeezezza nti ennyonyi eno eyabadde etambuza abajaasi Abamerika ng’ebatwala e South Sudan yaweddemu amafuta eyabadde agivuga kwe kusalawo okugisimba wakati mu luguudo kyokka ne bwe baagaleese era yalemeddwa okuddamu okubuuka.
 
Poliisi yategeezezza nti egenda kugikuuma okutuusa ng’abakwatibwako bagiggyeewo, okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu, Phillip Mukasa.
 
Abamu ku baagenzeeyo baakiikidde poliisi ensingo okubagaana okugituukako sso ng’abamu bacacanca nti bawonye okusasula okugenda e Ntebe nga n’okutuuka ku nnyonyi emisoso mingi.

 Newankubadde waliwo abajaganya, ye Ying. John Kintu ne muganda we, Paul Muwanga baddukidde ku poliisi y’omu kitundu kye Kiwawu ne baggulawo omusango ku fayiro: SD10/20/07/2014 nga beemulugunya nti ennyonyi yazibye ekkubo eriyingira mu nnimiro y’amajaani gaabwe sso nga buli luvannyuma lwa nnaku bbiri babadde bakungula kkiro ezisoba mu 300.

N’okutuusa leero abantu babadde bakyekuluumulula okugenda okulambula ennyonyi

 

Essanyu n’amaziga ku nnyonyi y’e Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...