TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasirye Ggwanga alangiridde okwesimbawo ku kya ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana

Kasirye Ggwanga alangiridde okwesimbawo ku kya ssentebe wa disitulikiti y'e Mityana

Added 13th October 2014

BRIG. Kasirye Ggwanga alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo avuganye ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana mu kulonda kwa 2016, ng’essira agenda kuliteeka ku kya kutereeza kibuga n’okukola ku nguudo eziyingira mu byalo wamu n’okukulaakulanya ebyobulimi.

Bya KIZITO MUSOKE ne LUKE KAGIRI

BRIG. Kasirye Ggwanga alangiridde nga bw’agenda okwesimbawo avuganye ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana mu kulonda kwa 2016, ng’essira agenda kuliteeka ku kya kutereeza kibuga n’okukola ku nguudo eziyingira mu byalo wamu n’okukulaakulanya ebyobulimi.

Kasirye Ggwanga eyaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende okutuuka mu 2001 agamba nti yeewuunya okulaba nga bukya ava mu ntebe emyaka 13 emabega, abakulembeze balemeddwa okubeerako kye bongera ku bintu bye yaleka akoze naddala enguudo.

Mu kiseera ekyo Mityana yali ekyali ku Mubende nga tezinnakutulwamu kufunamu disitulikiti bbiri.

Kasirye agamba nti enguudo ze yali akoze nga Gavana (bwe yali yeeyita) wa Mubende, mu kiseera kino ziringa ebisinde ebitwala ente kyokka ng’abakulembeze abaliwo tebalina kye bakolawo.

Yagambye nti ekisinga okumwennyamiza kwe kubeera nti, wadde takyali mu ntebe amaliriza alina okukunga abantu ne bakola bulungibwansi okutereeza amakubo agamu wabula ng’abakulembeze abazivunaanyizibwako bali mu kweriira nsimbi!

Ekiseera Kasirye we yaviira ku bwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Mubende, abantu baali bakyamwagala nnyo, kubanga yakola amakubo mangi era nga yali yateekawo enkola y’abatuuze okwerimira amakubo gaabwe, olwo disitulikiti n’ebasasula.

Yalondoolanga nnyo emirimu gya disitulikiti, era nga wadde yali muganzi, kyokka yafuga ekisanja kimu kyokka n’ataddamu kwesimbawo.

Ekibuga ky’e Mityana bwe kifaanana.

Kasirye Ggwanga bamuzaala ku kyalo Katakala mu Mityana Town Council, era ng’alina ffaamu ku kyalo Nkene, ekisangibwa mu ggombolola y’e Maanyi mu ssaza ly’e Busujju mu disitulikiti y’e Mityana.

Ng’ali mu kuziika Samwiri Mugwisa Omwezi oguwedde, Kasirye yayongedde okukkaatiriza nga bw’amaliridde okudda ku Bwassentebe bw’e Mityana, akole ku biremye.

Yalumirizza abakulembeze okudda mu kulya enguzi ne beerabira ekyabalonza.

Kyokka wadde Kasirye yalangiridde, naye abantu abamu balinamu okutya nti ayinzaobuteesimbawo, kuba ne mu kulonda okwayita era yalaga nga bw’ateekateeka okwesimbawo kyokka ku nkomerero n’akyusa ekirowoozo.

Wabula abawagizi be bagumidde ku ngeri gy’atadde amaanyi mu kakuyege ky’ataakola mu kulonda kwa 2011.

ABALALA ABASUUBIRWA MU LWOKAANO
Mu kiseera kino ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana ye Deborah Kyazike Kinobe, era asuubirwa okuddamu okwesimbawo mu kifo kyekimu kino.

Abalala abaagala ekifo kino kuliko, munnamateeka Ibrahim Kamya Kameze, era ng’ono yaliko kansala akiikirira ekibuga Mityana ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Mubende, wadde nga mu kiseera kino abadde tali mu bukulembeze.

Omulala abwagala ye munnamagye eyawummula, Capt. Muwanga Kaweesi. Ono mu kiseera kino akola n’abasirikale abagaba ebintu bya NAADS e Mityana. Bamuzaala ku kyalo Nambaale ekisangibwa mu ggombolola y’e Busimbi.

EMBEERA Y’OBUKYAFU MU MITYANA TOWN COUNCIL YEERALIIKIRIZA
Omubaka wa pulezidenti e Mityana, Lt Joy Walusimbi alumbye abakulembeze ba Mityana Town Council n’abanenya olw’okulemererwa okuyonja ekibuga, era n’abalabula nti singa balemwa okuweereza obulungi, baakukwatibwako n’omukono ogw’ekyuma.

Walusimbi yategeezezza wiiki ewedde nga bwe yabadde atandise okulondoola enzirukanya y’emirimu mu kanso ng’agamba nti okumala ebbanga aba kanso babadde balemeddwa okutuusa obuweereza mu bantu awatali nsonga nnung’amu.

Mu kiseera kino ebinnya byeyongedde ku nguudo z’ekibuga Mityana wamu ne kasasiro kyokka abakiddukanya tebavuddeyo kukyusa mu buweereza.

Ezimu ku nguudo ezisinga okubeera mu mbeera embi lwe lwa Kampala Road, olwayibwamu ettaka ebitundu ebimu, ekiraga nti lwali lugenda kukolebwa kyokka ettaka lyalekebwa awo.

Okumala ebbanga abaddukanya Mityana Town Council babadde bategeeza nga bwe batalina nsimbi zikola mirimu nti balina ebbanja lye basasula mu kitongole ky’emisolo, ekya URA.

Yadde ng’emyezi esatu emabega bazisasuddeko kyokka kigambibwa nti ebbanja terinnagwayo. Walusimbi yagambye nti yabadde agudde mu lukwe nga aba kanso bategeka okutunda poloti ezimu ez’ettaka ly’ekibuga nti basobole okukola enguudo, kino n’akiyimiriza.

“Nabawandiikidde era n’akulira abakozi mu disitulikiti ne mmutegeeza nti okukola emirimu mu kibuga tekyetaaga kusooka kutunda bintu. Bwe binaggwawo olwo banaatunda ki okukola emirimu emirala,” bwe yagambye.

Yagasseeko nti ng’akolagana n’abakulembeze ba disitulikiti, balagidde aba kanso bakole emirimu gyonna awatali kwekwasa nsonga yonna kubanga ensimbi ze balina okukozesa ziva mu Gavumenti.

Yagambye nti singa embeera eno tekyuka, agenda kukoseza obuyinza n’amateeka ebisingako.

OMUBAKA AYAMBYE TOWN COUNCIL
Omubaka omukyala akiikirira Mityana, Sylvia Namabidde yayise abaddukanya ekibuga kino omwezi oguwedde n’abatwala mu kitongole ekikola ku nsimbi z’enguudo, ekya Uganda Road Fund, ne kikkiriza okubawa ensimbi.

Namabidde yagambye nti, ensimbi ze basuubira Okufuna zigenda kuyamba Okuddaabiriza ekitundu ky’oluguudo lwa Kampala Road olusinga okubeera obubi.

Okuva ku kkono; Ssentebe Kinobe ne RDC Lt. Walusimbi

ABA KANSO BAANUKUDDE
Akulira eby’emirimu mu kibuga Mityana, Gonzaga Ssebulime yagambye nti baafunye obukadde 50 okuva mu kitongole kya URF.

Yagambye nti zino zigenda kukozesebwa okukuba ebiraka ku luguudo lwa Kampala Road.
“Mu kiseera kino akakiiko akakola ku by’okugaba emirimu ne ttenda ke kakyatusibye naye ensimbi twazifunye ezigenda okukuba ebiraka,” bwe yagambye.

Kasirye Ggwanga alangiridde okwesimbawo ku kya ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...