TOP

Amasomero 20 gaggaddwa e Mityana

Added 20th April 2015

Abakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mityana batongozza ebikwekweto ku masomero ne baggala amasomero 20 agabadde tegatuukiriza bisaanyizo.

Bya Luke Kagiri


Abakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mityana batongozza ebikwekweto ku masomero ne baggala amasomero 20 agabadde tegatuukiriza bisaanyizo.

Ebikwekweto bino byatandikidde mu ggombolola y’e Bulera ne bidda e Ssekanyonyi, Busimbi ne Kakindu nga wiiki we yaggwereddeko ng’amasomero 20 gaggaddwa.

Gerald Ssali, omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Mityana yagambye nti amasomero gano gabadde gateeka obulamu bw’abayizi mu katyabaga kubanga gabadde n’ebizimbe bibi nnyo ate nga tegalina bbaluwa zigakkiriza kukola.

Amasomero agamu tegaabadde na kaabuyonjo ate ng’agamu agaabadde nazo zaabadde mu mbeera mbi nnyo.

Ssali yategeezezza nti waliwo amasomero agaggalwa kyokka ne gaddamu okuggulawo nga tegakkiriziddwa nga gano gagenda kukwatibwako n’omukono ogw’ekyuma era abanaakwatibwa baakuggalirwa.

Erimu ku masomero agaggaddwa.

Ab’ebyenjigiriza wiiki yonna baagimazeeko nga balawuna amasomero ag’enjawulo nga beeyawuddemu ebibinja bibiri.

Ekibinja ekimu kyakulembeddwaamu Ssali, ate ekyokubiri kyakulembeddwaamu omumyuka we, Lawrence Kamya.


Amasomero 20 gaggaddwa e Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...