TOP

Abakorea bagenda kussa ssente mu Mityana

Added 27th April 2015

DISITULIKITI y’e Mityana ekoze endagaano n’Abakorea nga bagenda kubadduukirira mu pulojekiti ez’enjawulo mu mirimu gy’enkulaakulana.

Bya Samuel Balagadde

DISITULIKITI y’e Mityana ekoze endagaano n’Abakorea nga bagenda kubadduukirira mu pulojekiti ez’enjawulo mu mirimu gy’enkulaakulana.

Abakorea mu kibiina kya Saemaul Undong Center baatadde emikono ku ndagaano ng’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mityana mwe bagenda okuyambira ebyalo eby’enjawulo mu magombolola Bbanda ne Malangala mu ssaza ly’e Busujju.

Enteekateeka eno egendereddwaamu okusitula embeera y’abatuuze ey’ebyenfuna, obulamu n’obuyonjo nga bayita mu kukola emirimu egy’enjawulo omuva ensimbi ssaako bulungibwansi nga babikolera mu bibiina.

Ebyalo ebigenda okutandikirwako okugiganyulwamu, buli kimu kyakuweebwa ddoola 27,000 ( mu za Uganda ziri 8,154,000/-) okumala emyaka etaano.

Pulojekiti ezissiddwaamu ssente mulimu obulunzi bw’embizzi, okukola obuuma bwa kasooli n’ebinyeebwa, obulunzi bw’enkoko n’ebyuma ebikuba amattoffaali.

Ssentebe wa distulikiti y’e Mityana, Deborah Kyazike yagambye nti enkolagana eno bagenda kulaba nga bagitwala mu maaso okusobola okutuukiriza ebigendererwa byayo.

Yagambye nti bagenda kukola ekisoboka okulondoola pulojekiti zino okulaba ng’obwavu bugobebwa mu maka n’ebirala.

Mw. Song Won Young ku lwa Pulezidenti wa Korea, Saemaul Undong Center yasabye Bannayuganda naddala abo abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno okutwala pulojekiti zino mu maaso okusobola okutuukiriza ekigenderwa ky’okugoba obwavu mu maka n’okutuusa enkulaakulana mu bitundu.

Minisita Vincent Nyanzi (Busujju) yagambye nti enkolagana ya Uganda ne Korea etutte ekiseera era alina essuubi nti agenda kuvaamu ebibala ebigenda okuyamba Bannayuganda .

Yakuutidde abo bonna abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno okussaayo omwoyo ku bintu bye bagenda okuddukanya kuba bagenda kusooka kusomesebwa ku bukugu obw’enjawulo mu buli kika kya pulojekiti.

Ssaabawandiisi wa Saemaul Undong Villages mu Uganda, Stephen Kayongo yagambye nti enkola y’okutuusa enkulaakulana mu bitundu yatandika dda mu Uganda ng’ezze ezingiramu amagombolola nga Nsangi ku byalo Kitemu ne Katereke mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abakorea bagenda kussa ssente mu Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...