TOP

Ab'e Busunju akatale akapya kabasobedde

Added 27th April 2015

ABAKOLERA mu kibuga ky’e Busunju mu Mityana balaajanye olw’embeera gye bakoleramu gye bagamba nti ebanyigiriza.

Bya PETER SSAAVA

ABAKOLERA mu kibuga ky’e Busunju mu Mityana balaajanye olw’embeera gye bakoleramu gye bagamba nti ebanyigiriza.

Ebintu ng’akatale k’emmere ke baazimbira abasuubuzi, baakaddukamu nga bagamba nti tewali bakasitoma kuba keesudde ekibuga ate nga ne kaabuyonjo teziri ku mutindo.

Bino bye bimu ku byaleetera abasuubuzi okukaddukamu ne badda ku makubo mu kibuga wakati we batundira ebyamaguzi byabwe okutuusa ng’abakulembeze baabwe babafunidde ekifo we bayinza okuteekebwa nga tebakolera mu bugubi.

Richard Byekwaso ssentebe w’abasuubuzi mu kibuga Busunju agamba nti akatale akapya wekali waliwo ekkoona eddene eriremesa emmotoka ezimu okuyimirirawo ate nga n’amazzi tegaliiwo.

Abasuubuzi era baasabye Town Board y’e Busunju ebafunire ekifo ekisikiriza abaguzi nga tebannalowooza ku kya kubasengula we bakolera.

Baategeezezza nti akatale kalina ekifo kya yiika ssatu wabula abakulembeze baabwe babasindika mu kifo kye baazimba okumpi n’omugga Mayanja kye bagamba nti wala n’ekibuga kye Busunju ate nga n’obukuumi tewali.

Omuwanika mu katale kano, Diana Kkonde yategeezezza nti ebbanga lye yamala mu katale kano, yafiirwa bakasitoma be kuba baali tebasobola kutambula lugendo luwanvu ng’ate oluusi ne bye bakima bitono.

Yayongeddeko nti n’obuyumba bwe baazimba ku katale kano tebutuukiridde ekiyinza okuvaako ababbi okubba ebintu byabwe ne bafiirwa ate n’okwonoonebwa enkuba.

Byekwaso yasabye abakulembeze batereeze ekifo ky’akatale kye balina mu kibuga ky’e Busunju okusinga okubasindika ewala kuba wano we bali bakola ate nga n’obukuumi weebuli.

Yasabye abakulira ekibuga basooke batunuulire embeera mwe bakolera nga tebannabasaba misolo ssaako okubagobaganya mu kifo we bafuna bakasitoma.

Ate eyali ppaaka y’emmotoka mu Busunju tekyakola olw’emisolo emingi egyali gigerekeddwa bannannyini kifo emmotoka we zaali zitikkira ne basalawo okudda ku mabbali g’ekkubo we bakolera kati.

Ssentebe w’abavuzi ba takisi mu Busunju, Saul Kakande yagambye nti we baali bapangisa okutikkira abasaabaze, baali basaba obukadde mukaaga buli mwaka ate oluvannyuma ne bongeza okutuuka ku munaana ze baali tebasobola kusasula.

Ayongerako nti bwe baatuukirira abakulembeze baabwe baabawa ekitundu ku katale akapya ak’emmere batikkire ng’eyo ekyalemesa abatasobola kutambula kukkirira we baali babatadde era kwe kusalawo okutikkira ku mabbali g’ekkubo mu kibuga wakati.

Bbo abatemi b’ennyama baabazimbira lufula empya wabula ente bazisalira mu ttaka nga beekwasa nti awali lufula wala tebasobola kwetikka nnyama kuva ku lufula kugitwala mu kibuga Busunju ekireetedde ababeera mu Busunju okulya ennyama etali ku mutindo.

Bw’oyingirako munda mu kibuga kaabuyonjo ezimu tezisaanye kukozesebwa ate nga n’amaka agamu tegazirina ekivaako abamu okweyambira buli we basanze.

Amyuka Town Clerk, Fatuma Namazzi agamba nti ensonga zino zaatuuka ku disitulikiti era bazikolako ne basaba abakolera mu kabuga okuba abagumiikiriza.


 

Ab’e Busunju akatale akapya kabasobedde

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...