TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga 8 ezikyalemesezza Mityana okufuuka munisipaali

Ensonga 8 ezikyalemesezza Mityana okufuuka munisipaali

Added 11th May 2015

EKY’OBUTALANGIRIRA kibuga Mityana mu kimu kw’ebyo ebibadde bisuubirwa okusuumuusibwa okutuuka ku ddaala lya munisipaali, kikubaganyizza abatuuze empawa.

Bya KIZITO MUSOKE

EKY’OBUTALANGIRIRA kibuga Mityana mu kimu kw’ebyo ebibadde bisuubirwa okusuumuusibwa okutuuka ku ddaala lya munisipaali, kikubaganyizza abatuuze empawa.

Abamu bagamba nti ekibuga kyabwe tekinnaba kukula, ate abalala ne bakiteeka ku bakulembeze obutafaayo.

Kino kiddiridde minisitule ya Gavumenti z’ebitundu mu ggwanga, okufulumya olukalala lwa gavumenti z’ebitundu empya z’eyagala zitongozebwe ng’okulonda kwa 2016 tekunnabaawo.

Bannamityana baludde nga beesunga munisipaali, naddala bannabyabufuzi ababadde batandise okusonga ku bifo by’okwesimbako, singa kirangirirwa ng’efuuliddwa munisipaali.

Olukiiko olufuga ekibuga Mityana lwayisa dda, ekiteeso era ne kisembebwa n’olukiiko lwa disitulikiti nga baagala Mityana kifuulibwe ekibuga ekinene ekiri ku ddaala lya munisipaali, era kino kibeera kitegeeza nti balina n’okubeera n’omubaka wa palamenti eyeetongodde. Okuva mu 2005 babadde basaba munisipaali.

Agamu ku makubo agayingira mu kibuga Mityana agakyali obubi.

Mu kiwandiiko kwe baasabira munisipaali baali basembye eggombolola y’e Busimbi, eyeetoolodde ekibuga Mityana, egattibweko, kibasobozese okuweza obunene n’o-muwendo gw’abantu abeetaagisa.

Eky’obutasuumusa kibuga kino, abatuuze abamu baakisembye ne bategeeza nti ekibuga kikyabulamu, bw’okigeraageranya n’ebibuga ebirala ebiri ku ddaala lya munisipaali. Kyokka abalala ne bategeeza nti buli ekyetaagisa babadde bakirina.

MITYANA TENNATUUKA KU NKULAAKULANA YEETAAGISA
Fred Wotonava, kansala akiikirira ekibuga kino ku lukiiko lwa disitulikiti, yagambye nti tawagira kya kumala gatongoza Mityana kufuuka munisipaali kuba ekyabulamu. Okujja kwayo, kibadde kigenda kukosa nnyo omuwi w’omusolo.

  1. Yagambye nti okubeera ne munisipaali kiba kitegeeza nti emisolo gy’amaduuka gigenda kweyongera. Kibeera kikyamu abantu okuwa emisolo emingi ng’ate tebafunamu.
  2. Abakulembeze era balemeddwa okukola amakubo nga ne ku nguudo tekuli mataala
  3. Wotonava yagambye nti ekibuga Mityana kibulamu kuba munisipaali erina okuba n’ekibuga ekinene, awamu n’obubuga obutono obukiriikiriza, ekitali ku Mityana.
  4. Yagasseeko nti obubuga obwetoolodde Mityana nga Ttamu ne Naama, tebunnatuuka wadde ku ddaala lya Town Board, nga kibeera kikyamu okubifuula munisipaali. Era singa ogeraageranya Mityana n’ebibuga ebiri ku ddaala lya munisipaali nga Entebbe n’e Jinja, okiraba nga yabadde terina kufuuka.
  5. Daudi Malagala, omwogezi w’abasuubuzi b’e Mityana abeegattira mu kibiina kya Mityana United Traders Association (MUTA), naye yawagidde eky’obutafuula Mityana munisipaali n’ategeeza nti tewali nkulaakulana.
    “Kino kiringa okunenya omusomesa, obutakkiriza muyizi atayise bibuuzo kugenda mu kibiina kirala. Ebibuuzo bye baasinziddeko okusuumusa ebitundu, Mityana teyayise, era tulina kusooka kuddamu kuteekateeka mwana waffe bulungi, oguddako akyayinza okuyita,” Malagala bwe yategeezezza.
  6. Mityana kyali kibadde ekibuga eky’okubiri mu buyonjo mu ggwanga lyonna, kyokka mu kiseera kino kicaafu ekisusse. Gavumenti yawaayo ebimotoka munaana okuyoola kasasiro, kyokka kati bimezeemu muddo.
    Malagala agamba nti toyinza kuddira kibuga, ekitalina wadde ofiisi, ng’eziriwo ziri mu bizimbe bya Ssaabasajja n’ogamba nti obafuule munisipaali, kuba olunaku luyinza okukya nga Buganda eyagala kukozesa ebizimbe bye bimu.
    Yagasseeko nti ekibuga kati tekirina mataala ku nguudo nga n’amakubo enkuba bw’etonnya gajjula ebitaba.

ABAWAGIRA MUNISIPAALI BOOGEDDE
Emmanuel Sembuusi Butebi, ssentebe w’abasuubuzi mu kibiina kya Mityana Traders Association (MITA), yawagidde ekya Mityana okufuulibwa munisipaali n’agamba nti kye kyandibayambye okukulaakulanya ekitundu.

Yagambye nti ekiseera kino ekibuga kikyuse ng’ebizimbe eby’omulembe bizimbiddwa awamu n’eddwaaliro nga n’abantu beeyongedde mu kitundu.

Butebi agamba nti ebizibu ebiri mu kibuga Mityana omuli amakubo amabi, biva ku bbula lya ssente.

Agamba nti singa ekibuga kifuulibwa munisipaali babeera bagenda kufuna ssente ezisingawo, basobole okwekulaakulanya.

Abakiwagira abalala bagamba nti n’eby’obusuubuzi bikuze, ng’ebizimbe bya kalina bingi mu kitundu ne wooteeri.

Eggombolola y’e Busimbi n’e Mityana Town Council, balina amazzi g’emidumu nga n’ebitebe by’enzikiriza zonna mwebiri mu disitulikiti. Mityana era we wasangibwa n’ekitebe kya poliisi mu kitundu kya Wamala Region ekitwala disitulikiti okuli; Mityana, Mubende ne Kiboga.

“MEEYA” WA MITYANA AYOGEDDE KU KYA MUNISIPAALI
Fred Wasswa Kikaawa, meeya wa Mityana agamba nti obutafuna munisipaali kyakoze bubi, kuba kye kibadde kigenda okubbulula ekitundu, nga banogera eddagala ekizibu ky’ebbula lya ssente kye balina.

“Tufuna obukadde 186, okuva mu Gavumenti ya wakati omwaka, nga kibeera kizibu okuzikozesa ne tukulaakulaanya ekitundu. Singa tubeera tufunye munisipaali, kijja kwongera ku bungi bwa ssente ezikung’anyizibwa, kuba munisipaali efuna ssente nnyingi.

Ate okusinziira ku mateeka, babeera bateekeddwa okukola amakubo ga kolaasi, obutafaanana nga bwe kiri ku Town Council. Ku kigambibwa nti balina okubeera nga basobola okwekolera ku bizibu byayo, kino yagambye nti bandikisobodde kuba ekiseera kino bakola bajeti ya bukadde 1400, nga singa obagattako Busimbi kijja kuyitirira.

Waliwo ebibuga bingi ebiri ku ddaala lya munisipaali kyokka nga tubisinga okubeera obulungi, era sirabawo kyekwaso.

Ebintu ebisinga ekibuga bikirina omuli obungi bw’abantu, ofiisi awamu n’ettaka eddene mu Busimbi we basobola okugula ne bagaziwa. Yagambye nti ekirina okukolebwa kati kwe kwongera ku bungi bwa ssente eziva mu gavumenti ya wakati, era nga munisipalite ly’eggezi,” Kikaawa bwe yagambye.

Kikaawa era yagumizza ababadde beeraliikirira nti Mityana ekyabulamu ku nkulakaulana bwogeraageranya n’ebitundu ebirala n’ategeeza nti okufuna munisipaali tekitegeeza nti balina okubeera n’ebisaanyizo byonna 100 ku 100. Singa babeera n’ebitundu 70 ku 100 basobola okutandikira awo.

EBIRINA OKUBEERA MU MUNISIPAALI
Okusinziira ku tteeka erifuga gavumenti z’ebitundu, erya Local Government Act, ekibuga okufuulibwa munisipaali kirina okubeera:

  • Omuwendo gw’abantu abawera emitwalo 10. Ate okufuulibwa Town Council, balina okubeera n’abantu 25,000.
  • Kirina okuba n’obusobozi obufuna ssente ezikola ku bizibu byayo, okubeera ne ofiisi, amazzi awamu n’entegeka ennung’amu ku nkozesa y’ettaka.

Okusinziira ku byava mu kubala abantu mu 2014, ekibuga Mityana kiweza abantu 48,002 ate eggombolola y’e Busimbi erimu 48,660. Kino kiba kitegeeza nti amagombolola abiri agakola munisipaali galimu abantu 96,662.

Ensonga 8 ezikyalemesezza Mityana okufuuka munisipaali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...