TOP

Kawooya atumbudde abakyala b'e Mityana

Added 25th May 2015

BW’OYOGERA ku linnya lya Muky. Kawooya e Mityana ne Mubende, bangi bamutegeerera ku kukulira obukiiko obugaba emirimu mu disitulikiti.

Bya KIZITO MUSOKE

BW’OYOGERA ku linnya lya Muky. Kawooya e Mityana ne Mubende, bangi bamutegeerera ku kukulira obukiiko obugaba emirimu mu disitulikiti.

Abakuzeemu bamujjukira ng’omusawo w’ebisolo, ate ng’abaakavubuka basinga kumutegeerera ku kukulira kifo kya Mityana Kolping.

Abakozi ba Gavumenti bangi mu disitulikiti y’e Mubende, Mityana, Kyankwanzi, Gomba ne Butambala bayise ku mmeeza ye okufuna emirimu.

Yayogedde bwati ku bulamu bwe: Nze Margaret Kawooya, nzaalibwa ku kyalo Kisunku e Kaliisizo mu disitulikiti y’e Rakai. Bazadde bange ye Joseph Sebbowa ne Sidona
Nalubega.

Nasomera Matale Primary, Christ the King Kaliisizo ne Entebbe Veterinary Training Institute, gye nnafunira satifikeeti ne dipulooma mu busawo bw’ebisolo era nga ndi omu ku bawala abaasooka okusoma obusawo bw’ebisolo mu ttendekero lino.

Kyokka oluvannyuma nagenda e Nkozi University ne nfuna diguli mu ‘Democracy and Development Studies.’

Nzija e Mityana
Nava e Masaka ne nzija e Mityana oluvannyuma lw’okufuna omusajja, Vincent Kawooya, eyali omusawo w’ebisolo.

Kyokka ebyembi n’anfaako mu 2008, mu kabenje e Jjeza ku lw’e Mityana. Mu kiseera we yafiira omwana waffe asembayo yali ali ku yunivasite.

Bwe ntuuka e Mityana naweebwa obuvunaanyizibwa ku disitulikiti e Mubende, nga mmyuka akulira essaza ly’e Ssingo. Mu kiseera ekyo nze mukyala eyasooka okubeera
omusawo w’ebisolo era bangi banneewunyanga.

Obuzibu bwe nnasanga mu mulimu guno bwali bwa kukuba nte mpiso, era omusajja we yajjanjabiranga ente 10, nze mbeera nzijanjabye bbiri zokka anti nga nzitya.

Okukama ente nakwo, nakusangamu obuzibu, kyokka olw’okuba nnalina okussa mu nkola bye nasomerera, nga sirina kya kukola.

Abantu bangi banjogereranga nti omukazi akama ente waawa? Nnawummula obusawo mu 1995 ne nsalawo okukola faamu kwe nnundira awamu n’okulima ng’esussa yiika 100.

NKULIDDE OBUKIIKO BWA DISIT ULIKITI OBUGABA EMIRIMU
Mu 1999, nalondebwa okubeera ssentebe w’akakiiko ka disitulikiti akagaba emirimu mu disitulikiti y’e Mubende. Ekisanja kyange kyali kya kubeera kya myaka ena, era bwe kyaggwako ne bannyongera ekirala kya myaka ena, okutuusa bwe nnabimaliriza mu 2007.

Nnalina omukisa okuweereza wansi wa ba ssentebe ba disitulikiti babiri okuli; Brig. Kasirye Ggwanga ne Maj. Joseph Kakooza.

Ekisanja kyange bwe kyali kiggwako ate disitulikiti y’e Mityana ne bagitondawo. Wano bakama bange ab’e Mityana baasiima ne bannonda okuddamu okukulira akakiiko
akagaba emirimu mu disitulikiti y’e Mityana gye nnaweerereza ebisanja bibiri, okutuusa lwe nannyuse mu October wa 2014.

E Mityana nnaweereza wansi wa bassentebe babiri okuli Joseph Musoke ne Deborah Kyazike Kinobe we mpummulidde.

NTANDIKA KOLPING E MITYANA
Mu 1988, ng’essaza lya Kiyinda Mityana lyakatandika, nga linoonya engeri gye lisobola okutumbula abantu baayo, Eklezia yatandikawo ekibiina kya Kolping era nga nalondebwa ku lukiiko olukikulembera era mu kiseera ekyo twali tupangisa bupangisa.

Oluvannyuma nalondebwa ku lukiiko lw’eggwanga, era nga nze mumyuka wa ssentebe.

Nalondebwa era okutuula ku lukiiko olufuzi olwa Kolping mu nsi yonna, era ng’ekitebe kyaffe kiri Germany.

Kino kyansobozesa okufuna emikwano ebweru w’eggwanga, nga njagala okulaba engeri y’okukulaakulanyaamu Kolping House Mityana Women Project.

Guno gwali mwaka gwa 1988, era nga twalina ekigendererwa ky’okutumbula embeera z’abakyala mu byobufuzi, ebyenfuna, eby’eddiini n’embeera z’omu bantu.

Twatandika okuyiiya ku ngeri y’okutumbulamu abakyala nga tubawagira mu by’obulimi era ne tutandika Mityana Kolping Hotel.

Wano nga tuyigiriza abakyala emirimu era wooteeri eno yatandikibwa n’ekigendererwa ky’okufunira abakyala akatale k’emmere. Nakizuula ng’ekimu ku bizibu ebitawaanya abakyala ge mazzi amayonjo, ne ntandika okunoonya obuyambi era nga mu kiseera kino
twakagaba ttanka ezisukka 800 eri amaka ag’enjawulo.

Kuno twagattako okuweerera abaana okuva mu pulayimale okutuuka we bamalidde
emisomo gyabwe.

Lumu mukama waffe mu nsi yonna yajja mu Uganda n’atukyalirako we twali tupangisa era ne tumusaba atugulire ekizimbe kye baali batunda mu 1990.

Yakitugulira mu 1991, nga tulina ekigendererwa ky’okuwa abavubuka emirimu n’okugaziya akatale k’emmere etundibwa. Neeyongera okusaka obuyambi ebweru
w’eggwanga ne tutandika okuwola abakyala ssente ku magoba amatono era bangi beekulaakulanya.

Mu 2001, twagaba ente z’amata 19, era nga mu kiseera kino abantu abasukka mu 50 be
baakaganyulwa.
Mu kiseera kino wooteeri yagejja era erimu buli ekyetaagisa. Ndi musanyufu nti
bingi ku birooto byange bituukiridde.

Amagezi ge nkubiriza abakyala naddala ab’e Mityana, bagende mu maaso nga bakozi, era nga bateekamu obwagazi, obumalirivu, nga balina n’ekigendererwa,” Muky.
Kawooya bwe yategeezezza.

Muky. Kawooya yeesimbawo ku bwameeya bw’ekibuga Mityana mu 2001, era wadde teyasobola kuwangula, kyokka okuvuganya okw’amaanyi kwe yateekawo kwazibula abakyala b’e Mityana bangi amaaso ne bamanya nti nabo basobola okuvuganya ku bifo n’abasajja.

Kawooya atumbudde abakyala b’e Mityana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...