TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvubuka alwanaganye n'ow'emmundu eyalumbye nnyina n'amutta

Omuvubuka alwanaganye n'ow'emmundu eyalumbye nnyina n'amutta

Added 2nd June 2015

OMUVUBUKA ow’emyaka 18 eyalwanaganye n’ababbi n’atta omu awuniikirizza ekitundu, bw’attottodde obumalirivu bwe yakozesezza.

 Bya LUKE KAGIRI

OMUVUBUKA ow’emyaka 18 eyalwanaganye n’ababbi n’atta omu awuniikirizza ekitundu, bw’attottodde obumalirivu bwe yakozesezza.

Patrick Walusimbi, mutabani wa Ruth Nazziwa ab’e Mizigo mu Mityana ku Lwomukaaga ekiro yalwanaganye n’abazigu abaabadde baagala okutemula nnyina babbe ensimbi.

Bino byonna okubeerawo Nazziwa ne mutabani we baabadde bannyuse bombi okuva ku dduuka lyabwe ery’ebirime ku Station Rd.

Bwe baatuuse ku kkubo erikyama awaka ne bagwa ku muzigu ow’emmundu n’agezaako okubakuba essasi eritaabakutte.

Omubbi Ssentongo Gyaviira eyakubiddwa amasasi n'afa

Yanyakudde akasawo ku Nazziwa eyabadde agudde wansi. Yabadde adduka, Walusimbi n’amubuukira n’amugwira olutalo ne lutandika.

Walusimbi yannyonnyodde nti, nnyina Nazziwa yawulidde olutalo olwo naye n’ajja okukkakkana nga baggye emmundu ku muzigu ne bamukuba okutuusa ab’ekyalo lwe baakung’aanye era omuzigu n’akubibwa n’afa.

Akavuvungano kano kaatutte ebbanga okutuusa poliisi lwe yazze okulaba ogubadde naye nga yasanze omuzigu amaze okuttibwa ng’emmundu Nazziwa y’agirina.

Pikipiki Gyaviira kwe yabadde atambulira, Walusimbi kwe yamubidde amasasi agaamuttiddewo

Nazziwa yagambye nti okumala ennaku ssatu abadde alina abantu be yeekengera nga bamulondoola ku mulimu era bwe baamuteeze ewuwe teyakyewuunyizza.

Omugenzi yasangiddwa ne kaadi eraga nti ye Gyaviira Ssentongo ow’e Masaka. Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Donald Ebunyu yagaanyi okubaako ky’ayogera ku nsonga eno.

Omuvubuka alwanaganye n''ow''emmundu eyalumbye nnyina n''amutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....