TOP

Eyasibibwa ku gw'okubba omwana awangudde

Added 16th June 2015

Ebikumi ne bikumi by’abantu beeyiye ku kkooti e Mubende omulamuzi bwabadde ayanjulira abafumbo abaludde nga bakaayanira omwana, ebyavudde mu kukebera endaga butonde, okusobola okuzuula bazadde b’omwana omutuufu.

Bya LUKE KAGIRI ne KIZITO MUSOKE


Ebikumi ne bikumi by’abantu beeyiye ku kkooti e Mubende omulamuzi bwabadde ayanjulira abafumbo abaludde nga bakaayanira omwana, ebyavudde mu kukebera endaga butonde, okusobola okuzuula bazadde b’omwana omutuufu.

Kino kiddiridde Bosco Odoch omutuuze w’e Mubende ne mukyala we, Barbara Atuhairwe, okulumba Juliet Nulu Mbabazi eyali abeera e Kitebi mu Kampala ne babajjako omwana we, Joyce Biramugisha, nga balumiriza nti omwana yali waabwe, kyokka nga waliwo abantu abaali baabamubbako.

Omulamuzi Wilson Wandera owa kkooti y’e Mubende yalagira abafumbo bano bombi okuggyibwako omwana ono, agire ng’akuumirwa mu kifo ekimu ekirabirira abaana.

Yalagira abazadde abakaayanira omwana okugenda mu kifo kya Gavumenti e Wandegeya gye bakeberera endagabutonde, ekintu kye baakola.

Omulamuzi bwe yabadde tannaba kwanjula byavudde mu kukebera endaga butonde, yasoose kuyisa kiragiro ekiwa omuserikale wa poliisi y’e Mubende avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana, Doreen Mumbere, obuyinza agende e Mityana anone omwana mu kifo gy’abadde akuumirwa.

Oluvannyuma ng’omwana aleeteddwa, omusango gwazzeemu okuwulirwa.

Omulamuzi yayanjudde ebyavudde mu kukebera endaga butonde nga bissiddwaako omukono gw’omukungu w’ekitongole kya Government Analytical Labaratory Geoffrey, Owen.
Omulamuzi yategeezezza nti kituufu omwana Biramugisha abadde akaayanirwa wa George Abumukiza ne Juliet Mbabazi.

Yagambye nti ebyavudde kukebera byalaze nti Otim Bosco ne Barbara Atuhairwe tebalina kakwate ku mwana.

Kyokka omulamuzi bwe yabadde asoma ebyavudde mu musaayi, Otim yagezezzaako okukyankalanya kkooti ng’awakanya ebyabadde bisomebwa ekyaleetedde kkooti okuyimiriramu okumala eddakiika 30.

Obwedda akaayana bw’aleekaanira mu bbanga “siyinza kukkiriza by’osoma, kuba luno lukwe lwa kutwala mwana wange. Sijja kubikkiriza, omwana kuba omwana wange”. Otim obwedda bwaleekaanira waggulu.

George Abumukiza yategeezezza nga bw’agenda ku poliisi okuloopa Otim olw’okumuggyako omwana we ne bategeeza nti yali yamubba bubbi, ekintu ekitabadde kituufu.

Yasiimye kkooti olw’okuvaayo n’eraga ekituufu, kuba abadde akimanyi bulungi nti omwana wuwe ne mukazi we, nga tebamubbangako.

Byava wano;

Abakazi kata balwanire ku poliisi e Kitebi nga bakaayanira omwana

ENKAAYANA Z’OMWANA
Obutakkaanya buno bwabalukawo nga March 15, 2015, Juliet Nulu Mbabazi omutuuze w’e Kitebi mu Kampala, bwe yalumbibwa omukyala Barbara Atuhairwe eyava e Sheema n’ategeeza nti omwana Mbabazi gwe yali alina (Joyce Biramugisha) nga bwe yali omwana we gwe baali bamubbyeeko.

Atuhairwe yategeeza nti omwana ono yamuzaala mu December wa 2014, kyokka ne bamumubbako bwe yali agenze e Kabamba e Mubende okumutwalira bba amulabeko. Omwana ono eyali azannya ne banne baamubba era taddangamu kulabikako.

Yategeeza nti muganda we, Florence Tumuhiirwe ye yamukubira essimu nga bwe waliwo omwana gwe yali alabye ng’afaanana owuwe gwe babba, era naye bwe yamutunulako nga ye wuwe.
Wano olutalo werwatandikira ne batandika okusikaasikanya omwana okutuusa abatuuze bwe baatemya ku poliisi y’e Kitebi ne batwalibwa ku poliisi.

Abatuuze baabulako katono okutwalira amateeka mu ngalo, nga balowooza nti Mbabazi yali yabba omwana wa munne, ekintu ekyazuuse oluvannyuma nti tekyali kituufu.

Kyokka Mbabazi yategeeza ng’omwana ono gwe yali ayita Joyce Biramugisha bwe yali owuwe, era nga yamuzaalira mu ddwaaliro e Kammengo.

Mbabazi eyasooka okusibwa oluvannyuma yayimbulwa, kyokka poliisi omusango n’eragira baguzze e Mubende awagambibwa nti gye gwaddizibwa.

Eyasibibwa ku gw’okubba omwana awangudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.