TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda batomereganye mu bikujjuko bya Ssingo omu n'afa

Abooluganda batomereganye mu bikujjuko bya Ssingo omu n'afa

Added 28th September 2015

Godfrey Kaweese yakedde kuvuga pikipiki ye ekika kya Bajaj ng’ayolekera Namboole. Omupiira olwawedde n’adda e Ssingo, wakati mu ssanyu.

Bya Luke Kagiri

Godfrey Kaweese yakedde kuvuga pikipiki ye ekika kya Bajaj ng’ayolekera Namboole. Omupiira olwawedde n’adda e Ssingo, wakati mu ssanyu.

Amangu ddala nga yaakayingira Wabigalo mu Mityana, wano we yakoonaganidde ne munne Joseph Ssempijja, era essanyu awo we lyakomye.

Abamu ku bakungubazi nga bakaabira omuntu waabwe.

Abamu ku baalabye akabenje kano, bbo baasazeewo kubba pikipiki olwo omulambo ne bagulekaawo
ttayo. Abadduukirize abamu baakwatiddwa Ssempijja ekisa ne bamutwala mu ddwaaliro e Mityana gy’ajjanjabirwa.

Ekyewuunyisa, ababiri bano baabadde tebamanyi nti baaluganda era abadduukirize abaasanze omulambo gwa Kaweesa ku makya, be baakizudde, olwo emiranga ne gyeyongera.

Kaweesa abadde akola emirimu egya njawulo naddala egy’obusuubuzi ng’oluusi atambulira ku pikipiki ye eno ey’ekika kya Bajaj.

Ronald Kyomye, kitaawe w’omugenzi yagambye nti omwana we abadde mukkakkamu era ekyamutanudde okugenda mu bikujjuko ebya Bannassingo bye baabaddemu oluvannyumalw’okufuna ekikopo teyakitegedde.

Embeera ya Ssempijja we baatuukidde mu ddwaaliro e Mityana, yabadde mbi ddala. Yabadde afunye ebisago ebyenjawulo nga tasobola na kwogera.

Omugenzi Kaweesa nga bwabadde afaanana

Abooluganda batomereganye mu bikujjuko bya Ssingo omu n’afa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...