TOP

Ab'e Mityana babanguddwa ku kugoba obwavu

Added 30th September 2015

ABAKUGU mu byobulimi n’obulunzi bawadde abalimi b’omu disitulikiti y’e Mityana ne Mubende obukodyo obugenda okubayamba okweggya mu bwavu. Abalimi baasomeseddwa abakugu abenjawulo nga baakuhhaanidde mu New High Hotel e Mityana.

 Bya KIZITO MUSOKE

ABAKUGU mu byobulimi n’obulunzi bawadde abalimi b’omu disitulikiti y’e Mityana ne Mubende obukodyo obugenda okubayamba okweggya mu bwavu. Abalimi baasomeseddwa abakugu abenjawulo nga baakuhhaanidde mu New High Hotel e Mityana.

Omuwi w’amagezi owa pulezidenti ku nsonga z’obulimi, Peterson Nyombi yasoose kwennyamira olw’abantu abagujudde ettaka mu kitundu kino ne kizibuwaza okulima ebirime mu bungi.

  • Nyombi yagambye nti abalimi kati bateekeddwa okwettanira okulima ebirime ebiteetaaga ttaka ddene n’abawa amagezi okutandika okulunda, kugattirize ku bye balima.
  • Abalimi era baalabuddwa okukomya okutandika okulima ekintu kyonna nga tebamaze kubala bwe kifuna. Yabagambye nti ng’abasuubuzi bwe babala buli ssente gye bakozesa, n’abalimi balina okukikoppa, kibayambe okwewala okufiirizibwa.
  • Abantu abeetoolodde ennyanja Wamala, baaweereddwa amagezi okutandika okujjumbira okulima, kuba kati ebyennyanja biweddemu olw’envuba embi nga kino kijja kukendeeza ku mujjuzo oguli ku nnyanja.
  • Patrick Iga, eyasinga mu mpaka z’omulimi asinga ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde, yalabudde nti ng’omulimi tannalima asooke kwebuuza ekirime ky’alima, engeri gye bakirimamu, awali akatale kaakyo n’ekiseera ekituufu kye balina okulimiramu.
  • Iga yalabudde abalimi buli omu okubeera n’ekirime kye bamumanyiddemu n’okufuba okulimira ku mutindo era mu bungi.
  • Yawabudde abalimi okukozesa omukisa gw’okuba okumpi ne Kampala nga n’abalimi bangi tebakyayagala kulima babaguze bye balima.
  • Iga era yakuutidde abalimi okunoonya okumanya bongere ku mutindo kwe balimira era yasabye okukomya okulima ebintu byokka bye baakula balaba. Yabakuutidde okusooka okuweza emmere mu maka okusobola okugaggawala.
  • Akulira ebyobulimi mu disitulikiti y’e Mityana, Godfrey Seruwagi yakubirizza abalimi okukomya omuze gw’okutundira ebirime ku musiri, kuba babadondola ne bafiirwa. Ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende, Francis Kibuuka Amooti agamba nti mu kiseera kino disitulikiti eno yeefubiridde ku kukola makubo abantu mwe basobola okutambuliza ebirime. Yennyamidde olw’abantu abangi abali mu byalo, kyokka ne batalima mmere wabula okugula engule.

Ab’e Mityana babanguddwa ku kugoba obwavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....