TOP

Angume aziikiddwa nnamungi w''omuntu

Added 8th May 2013

Ekyalo Kitwe mu disitulikiti y’e Kayunga kibuutikiddwa ebiwoobe n’okwazirana okuva mu b’enganda, abayimbi n’emikwano gy’omuyimbi Martin Angume aziikibwa.

 

 

 

 

Bya Catherine Lutwama


Ekyalo Kitwe mu disitulikiti y’e Kayunga kibuutikiddwa ebiwoobe n’okwazirana okuva mu b’enganda, abayimbi n’emikwano gy’omuyimbi Martin Angume aziikibwa.

Angume yafa ku Mmande ya wiiki eno mu ddwaliro e Mulago gyabadde amaze emyezi ng’ebiri ng’atawanyizibwa obulwadde bw’ensigo.

Kitaawe w'omugenzi Muzeeyi John Akullu Kawolawola yeebazizza abayimbi ne mikwano gya Angume olw'okujjanjaba mutabani we ne byonna bye bakoze mu kuziika.

Wabaddewo akanyoolagano wakati wa Poliisi n'abasazi b'ensawo ababadde bagufudde omugano okubba abantu mu lumbe era ng'ababbi abawerera ddala basatu be bakwatiddwa nga babba abakungubazi.

Omuyimbi Stecia Mayanja ng'awaniridde namwandu Julie Ssemugga bweyabadde ayogerako eri abakungubazi, ekif; Charles Jjuuko.

Namwandu Julie Ssemugga mu kwogera kwe yekokkodde ababungeesa engambo nti yeyasse bba olw'obugaayavu, nti teyabaddewo nga bba akutuka lwakuba yabadde agenze kulaba kitaawe, nagamba ni ye kitaawe yafa dda era yabaddewo wabula Mukama bweyasazeewo. Yeebazizza nnyo n'abo bonna abamulambudde mu ddwaliro ne batoola n'obuyambi okutuusa ku nkomerero.

Ye akulira abaggagga b'omukampala aba Kwagalana Godfrey Kirumira yeeyamye okuweererayo omwana wa Angume omu okutuusa lwalikoma okusoma era amufunire n'omulimu.

Angume aziikiddwa namungi w''omuntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...