TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze mu bizinga beeraliikiridde embeera y'amazzi: Gafuuse ga kiragala

Abatuuze mu bizinga beeraliikiridde embeera y'amazzi: Gafuuse ga kiragala

Added 17th October 2013

Kabaka gy’akomye okuteekamu amaanyi mu kukunga abantu okukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi, bo abatuuze, abavubi n’ababeera mu bitundu eby’enjawulo mu bizinga by’e Buvuma ku myalo egy’enjawulo mu disitulikiti y’e Buikwe ne Mukono ate beefunyiridde ku bikolwa ate ebityoboola ennyanja Nalubaale.



Bya Henry Nsubuga

Kabaka gy’akomye okuteekamu amaanyi mu kukunga abantu okukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi, bo abatuuze, abavubi n’ababeera mu bitundu eby’enjawulo mu bizinga by’e Buvuma ku myalo egy’enjawulo mu disitulikiti y’e Buikwe ne Mukono ate beefunyiridde ku bikolwa ate ebityoboola ennyanja Nalubaale.

Mu kadde kano, ebitundu ebimu eby’embalama z’ennyanja Nalubaale mu bizinga by’e Buvuma amazzi gafuuse ga kiragala ate ng’abantu olw’obutaba na kyakukola baganywerayo wadde nga gandiba ag’obulabe ennyo mu mbeera eno gye galimu nga galimu kazambi mungi nnyo.

Ebikolwa ebittattanye ennyanja mulimu abanaabira ku nnyanja, okwolezaamu emmotoka ne pikipiki, okwolezaamu engoye n’ebintu eby’awaka.

Kuliko n’abalimira ku mbalama z’ennyanja, abatandise okuzimbako n’abo abeeyambira mu nnyanja olw’emyalo egisinga obutaba na kaabuyonjo.

Abakugu mu by’obutonde bagamba nti ssabbuuni n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kunaaba n’okwoza ebidduka mu nnyanja byonoona n’okutta obutonde mu mazzi g’ennyanja nga n’omuddo oguli ku mbalama z’ennyanja nagwo gufudde.

Ebyembi, ssentebe w’omwalo gw’e Kirongo, Funa Bakali agamba nti ebyennyanja bibiikira mu bisaalu oba omuddo ogumera ku mbalama z’ennyanja ng’omuddo guno bwe gugenze gufa olwa ssabbuuni ayiibwa mu nnyanja, n’ebyennyanja n’amagi gaabyo ne gafa.

Bakali yategeezezza nti bateekawo engassi ya mitwalo 2 egirina okusasulwa buli muntu anaabira mu nnyanja naye nga kino kyabalema okuteeka mu nkola kuba poliisi ate yo tefaayo kubayambako ku nsonga eno ate nga n’oluusi abamu ku bantu be bakwata ne batwala ku poliisi babata oluvannyuma lw’okubagulirira.

aliten Lukoma ssentebe w’ekyalo Buliba agamba nti abakozi ba gavumenti bennyini bafuuse mmo mu kwenyigira mu bintu ebityoboola obutonde bw’ensi.

Lukoma agamba nti bano bakulemberwa akulira abakozi ba gavumenti atambulira mu mmotoka ya NAADS naye ng’olumutuusa e Buvuma nga bagisimba mu nnyanja nga bagyoza nga n’abavuzi ba bodaboda olulaba ono nga nabo basimba bodaboda zaabwe ku nnyanja nga booza.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Ddungu Wasswa yategeezezza nti bafubye okusomesa abantu ku bulabe obuli mu kutyoboola obutonde bw’ensi mu bizinga by’e Buvuma naye ebbanga lyonna babadde bamala biseera ng’abantu tebawulira n’okuteeka ebibasomesebwa mu nkola.


Abatuuze mu bizinga beeraliikiridde embeera y’amazzi: Gafuuse ga kiragala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...