TOP

Mwenda bafiiridde mu kabenje e Mukono

Added 27th December 2013

Abantu mwenda be baafiiridde mu kabenje akaagudde ku kyalo Kigunga okumpi n’ekibuga ky’e Mukono ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Jinja.



Bya Henry Nsubuga
Abantu mwenda be baafiiridde mu kabenje akaagudde ku kyalo Kigunga okumpi n’ekibuga ky’e Mukono ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Jinja.

Okusinziira ku Poliisi y’ebidduka e Mukono, akabenje kano kavudde ku mmotoka ya takisi nnamba UAJ 215M ebadde eva e Kampala ng’edda Mukono ng’ewenyuka buweewo eyingiridde ekimotoka ki lukululana nnamba KBA 325T/ZC 8050 nga kyo kibadde kidda Kampala olwo takisi ne bagigoya abantu ne bafa.

Akulira poliisi y’ebidduka e Mukono Mabel Asingwire ategeezezza nti akabenje kano kaguddewo mu kiro ekikeesezza ku Lwokutaano wakati w’essaawa 8:00 ne 8:30 nga bukya.

Asingwire agambye nti abantu 7 be bafiiriddewo embulaga ate 2 ne bafa nga baddusibwa mu ddwaliro e Mulago.

Abantu 5 bbo baasobodde okutuusibwa mu ddwaliro e Mulago gye baawereddwa obujjanjabi nga bataawa.

Densite y'omugenzi Ssebutere emusangiddwako

Ku bantu 9 abaafiiridde mu kabenje kano, poliisi etegeddeko omu nga ye Abdulswabur Ssebutere (17) abadde omuyizi mu ssomero lya West Herts College e Kikandwa-Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso.

Lukululana ebadde ekubyeko engano ya (Pembe Rwanda, Russian High Protein Wheat) ng’eno eyiise mu kkubo oluvannyuma lwa lukululana okulemererwa n’egwa ne yefuula n’etunula gye yabadde eva.

Bbo dereeva ne kondakita wa lukululana tebaalabiseeko ng’akabenje olugudde ne bamalamu omusubi.

Abamu ku batuuze abasula okumpi n’ekifo wagudde akabenje kano baategezezza nti bawulidde ekintu ekibwatuse ennyo era bwe waayise akaseera katono ne bawulira abantu nga balaajana.

Mu ggandaalo ly’ennaku enkulu mu disitulikiti y’e Mukono kati abantu abafiiridde mu bubenje baweze 10 ng’eyasooka yali muvuzi wa bodaboda Ramathan Bukoko eyatomerwa mmotoka n’afa mu kiro ekyakeesezza ku kulisimaasi.

Bukoko eyabadde omutuuze ku kyalo Upper Kauga yatomereddwa mmotoka eyabadde ku misinde ng’ali ku pikipiki nnamba UDH 457K okumpi n’essundiro ly’amafuta erya Hash ku kyalo Kawuga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.

 

 

Mwenda bafiiridde mu kabenje e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...

Abayizi lwe baababuulidde ku Lwokutaano.

Abayizi ba S4 batandise lee...

OLWALEERO abayizi ba S4 lwe batandika okukola ebibuuzo by'akamalirizo bye bagenda okutuula okutuusa nga April 6,...