TOP

Tuleera esse omugagga w'e Mukono

Added 25th May 2015

ABATUUZE b’e Mukono ne Kireka baguddemu encukwe, omusuubuzi ow’erinnya era nga ye nnannyini wooteeri ya Jobia, bw’afiiridde mu kabenje e Seeta.

Bya HENRY NSUBUGA

ABATUUZE b’e Mukono ne Kireka baguddemu encukwe, omusuubuzi ow’erinnya era nga ye nnannyini wooteeri ya Jobia, bw’afiiridde mu kabenje e Seeta.

William Katumba, 47, abadde nnanyini Jobia Hotel e Mukono ne bizinensi endala eziwerako e Mukono, Kireka ne mu Kampala, yafiiridde mu kabenje ku ssaawa nga 8:00 ogw’ekiro ekyakeesezza ku Ssande e Seeta mu kkoona okuliraana essomero lya Seeta High.

Omugenzi yabadde ava Kampala ng’adda Mukono, nga kirabika yayingiridde tuleera eyabadde edda e Kampala n’egoya emmotoka ye eya kabangali mwe yabadde atambulira.

Akulira poliisi y’ebidduka e Seeta, Basti Chemutai yategeezezza nti Katumba yabadde avuga emmotoka nnamba UAW 249X ate tuleera yabadde nnamba UAD 657Q.

Yannyonnyodde nti emmotoka ya Katumba yakyuse n’etunula gy’eva era yonna n’efungalala.

Mukyalamuto, Madrine Nyumera ng’akaaba mu maka g’e Mukono.

AFUDDE AGENDA WA MUKYALAMUTO
Chemutai agamba nti abaserikale baayanguye okutuuka awaagudde akabenje era baasanze Katumba akyasobola okwogera n’abategeeza n’amannya ge ne bamusika mu mmotoka ye okumutwala e Mulago kyokka n’akutukira mu kkubo nga tannatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

Yagambye nti Katumba yakubiddwa siteeringi mu kifuba, yamenyese omukono n’okugulu nga bye bimu ku byamuviiriddeko okufa ng’atwalibwa mu ddwaaliro.

Ekyasinze okwennyamiza abakungubazi kwe kuba nti akabenje Katumba yakafunye abuzaayo akabanga mpawekaaga okutuuka mu maka ge ag’e Upper Kawuga, gye yabadde agenda.


Katumba ne mukyalamukulu, Christine ku mbaga yaabwe.

Katumba y’ani?

  • Katumba azaalibwa omugenzi James Kamulegeya n’omukyala Tereza Nabatanzi abatuuze ku kyalo Kimwanyi mu Kira Town Council.
  • Katumba abadde mmemba mu kibiina ky’abagagga bannannyini kkampuni ez’enjawulo mu Mukono, Kireka ne Kampala ekiyitibwa Directors Club.
  • Abadde mufumbo wa mpeta nga mukyala we omutongole ye Christine Katumba ow’omu maka amakulu e Kireka Kinnawattaka, kyokka ng’abadde n’omukyala owookubiri ayitibwa Madrine Nyumera ow’oku kyalo Upper Kawuga era ng’eno gye yabadde alaga amale agwe ku kabenje.
  • Omugenzi alese abaana 11, okuli aba mukyalamukulu ne mukyala muto. Katumba nga February 19, 2015 yakung'aanya bagagga banne bwe beegattira mu kibiina kya Directors Club ne baaniriza Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku Jobia Hotel ne bamutikka ettofaali eryawerako.
  •  Muganda we, Steven Kamulegeya, yagambye nti muganda waabwe abadde Mukrisitaayo mukuukuutivu era ng’asabira mu kkanisa ya St. Stephen e Kireka gy’abadde omuyima wa kkwaaya.


Wooteeri y’omugenzi Katumba eya Jobia e Mukono. ate ku ddyo Lukululana eyatomereganye n’emmotoka, Katumba mwe yabadde n’emuttirawo.

ABATUUZE BALAAJANYE KU BIFO EBIFUUSE AKATTIRO KU LW’E JINJA
Abatuuze eb’enjawulo mu kibuga ky’e Mukono bavumiridde obubenje obususse ku luguudo oluva e Kampala okuddda e Jinja naddala mu kitundu ekiri wakati wa Bweyogerere n’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Nga Apirl 27, eyali akulira ekitongole ky’ebyobutonde bw’ensi ku disitulikiti y’e Mukono, Anna Maria Nakimbugwe yafiira mu kabenje akaagwa e Nammanve okumpi n’ekkolero ly’amazzi erya Rwenzori.
Nakimbugwe yafa oluvannyuma lw’emmotoka gye yali avuga ekika kya Nadia (nnamba UAS 205S) okwambalagana ne Isuzu nnamba UAR 671J.

Ebifo ebisinga okuba eby’obulabe ku luguudo luno kwe kuli mu kibangirizi ky’amakolero e Nammanve, nga waakayita ku siteegi y’abakyala ng’ogenda e Kampala, wakati w’ekkolero ly’amazzi erya Rwenzori ne Klezia, wakati w’ekkanisa ya Victory e Seeta ne tawuni y’e Seeta, okumpi n’essomero lya Seeta High, mu kikko e Kigunga, ng’okkirira nga waakava e Wantoni, mu Kitega nga waakayita ku kigenda e Namuyenje, wakati w’essomero lya Seeta High e Mbalala okutuuka e Namawojjolo, e Walusubi, e Kitega Lugazi ne mu Mabira.Katikkiro Mayiga (ku ddyo) lwe yakyala ku Jobia Hotel okunonayo ettofaali. Ku kkono ye Katumba.

 

EBINTU OMUGENZI BY’ALESE
Omugenzi Katumba alese bizinensi ez’enjawulo okuli wooteeri, Sauna ekolerwamu masaagi ku Rushid Kamis Road mu Kampala, ekifo awaddaabirizibwa pampu ezikozesa dezero e Kireka n’endala ku luguudo lwa Makaayi mu Kampala.

Agenda kuziikibwa ku kyalo Kimwanyi mu Kira Town Council enkya ku Lwokubiri.

Emmotoka Katumba gye yabade avuga.

Tuleera esse omugagga w’e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....