TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannabyabufuzi balumbye Gavt. mu kuziika ow'e Mukono

Bannabyabufuzi balumbye Gavt. mu kuziika ow'e Mukono

Added 27th May 2015

OMUGAGGA nnannyini Jobia Hotel e Mukono era ng’alina amaduuka agawerako mu Kampala aziikiddwa wakati mu kwaziirana. Abantu bangi okuli bannabyabufuzi beetabye ku kuziika Omugenzi William Katumba ku kyalo Kimwanyi e Kira mu maka ga kitaawe omugenzi James Kamulegeya.

Bya STEVEN MUSOKE NE HENRY NSUBUGA

OMUGAGGA nnannyini Jobia Hotel e Mukono era ng’alina amaduuka agawerako mu Kampala aziikiddwa wakati mu kwaziirana. Abantu bangi okuli bannabyabufuzi beetabye ku kuziika Omugenzi William Katumba ku kyalo Kimwanyi e Kira mu maka ga kitaawe omugenzi James Kamulegeya.

Wabula bannabyabufuzi abaweereddwa akazindaalo abawerako bakukkulumidde Gavumenti okulemererwa okussa ensimbi mu bintu ebitaasa oba ebidduukirira abagudde ku bubenje amaanyi n’egassa ku kugula mmundu na ttiya ggaasi.

Bannamwandu Nyumera (ku kkono) ne Christine (ow'empeta, mu gomesi enjeru) n’abaana baabwe mu kuziika. Wakati ye Tereza Kamulegeya maama w’omugenzi.

Omugenzi yafi iridde mu kabenje mmotoka mwe yabadde atambulira bwe yamulemeredde n’eyingirira lukululana e Seeta okumpi n’essomero lya Seeta High mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande.

Meeya wa Kira, Mamerto Mugerwa ye yasoose okukwata akazindaalo n’asaba poliisi eyongere amaanyi mu kulwanyisa obubenje kyokka omubaka Betty Nambooze Bakireke ate ye bwe yakakutte n’alangira Gavumenti okumalira amaanyi mu kugula ttiya ggaasi gwe yayogeddeko nga owa buli kkala n’eremererwa okugula ebyetaagisa mu kutaasa abafunye obubenje.

Minisita Kibuule ng’aganzika ekimuli ku ssanduuko y’omugenzi.

‘Katumba yamaze ekiseera nga ab’obubazzi bamutema mu mmotoka nga poliisi terina byuma bya mulembe bikola kino,” Nambooze bwatyo bwe yategeezezza.

Minisita w’ebyamazzi Ronald Kibuule ye yakiikiridde Gavumenti, Mmengo n’ekiikirirwa Ssekiboobo Banjamin Kigongo, bannabyabufuzi okwabadde Erias Lukwago, Ssegona, Meeya w’e Mukono Muyanja n’abalala baabaddewo.

Laba wano ebirala;

Omugagga w’e Mukono eyafiiridde mu kabenje abadde mmekete; abaana bakyayiika nga mazzi!

Tuleera esse omugagga w’e Mukono

Bamulekwa nga baganzika ebimuli ku ssanduuko ya kitaabwe.

Bannabyabufuzi balumbye Gavt. mu kuziika ow’e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga baggya ente mu mmotoka mwe yabadde eteereddwa okukusibwa.

Poliisi ebasuuzizza mmotoka...

ABASAJJA basatu abateeberezebwa okubeera ababbi b’ente baakiguddeko bwe beesanze ng’ekkubo lye babadde bakutte...

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Bakanyama bakoonye enju y'o...

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye...

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Omupangisa atunze ennyumba ...

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu...

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...