TOP

Kasasiro afuuse bimuli e Mukono!

Added 13th August 2015

OLI bw’akugamba nti kasasiro w’e Mukono yafuuka bimuli, omuwakanya olekamu!

Bya HENRY NSUBUGA

OLI bw’akugamba nti kasasiro w’e Mukono yafuuka bimuli, omuwakanya olekamu!

Entuumu za kasasiro amaze emyaka n’ebisiibo nga tayoolebwa n’omulala akongeeredde mu myala n’ebifulukwa (oluusi omusula ababbi) bifudde embeera y’ebyobulamu mu munisipaali y’e Mukono awazibu, ekyongedde okweraliikiriza abatuuze olw’endwadde ezoolekedde okubazinda.

Abasuubuzi mu kibuga Mukono bagamba nti wadde ng’abakulembeze babakanda omusolo, kibeewuunyisa okulaba nga kasasiro kati ali buli wamu okutuukira ddala ku nguudo ne mu maka g’abantu.

Ebifo kasasiro gy’akirako ebimuli ebitimbiddwa mulimu Industrial Area, amaduuka agali ku luguudo oluva e Mukono okugenda e Kayunga, ku paaka ya takisi naddala wabweru ku siteegi y’ezigenda e Jinja, mu Kamwanyi emabega wa supamaketi ya City Shoppers ne mu katale ka Kame Valley.

Olwa kasasiro okulwawo nga tayoolebwa, abantu kati  batandise okumwokera ku bbali w’enguudo ne wadde nga kino kyali kyawerebwa.

Entuumu za kasasiro ezima-ze emyaka mu Industrial Area y’e Mukono.

Waliwo n’embwa ezaafuuka edda emisege nga zisiiba zitambula nga n’abamu zibalumye naye ng’era abakulembeze beesuuliddeyo gwa nnaggamba.

Kansala Zaina Nakibirango yategeezezza nti buli kkanso ya Mukono Central Division lw’etuula, babategeeza kimu nti emmotoka tezirina we ziyita kutuuka mu Industrial Area awali entuumu za kasasiro wadde nga zo endala zigendayo!

Abakulembeze ba Mukono Central divizoni okuli Town Clerk, Charles Lubuulwa ne ssentebe, Jamil Kakembo, baategeezezza nti bafuba nnyo okuyoola kasasiro kyokka nti abantu mu Mukono bangi nnyo abamala gamumansa nga n’emmotoka ezimuyoola ntono nnyo era migangatika.

“Abantu baffe banditusiimye kuba e Mukono ffe tukyayoola kasasiro bwereere. Naffe ng’okulonda kwa 2016 kuwedde, tujja kulowooza ku ky’okubasasuza twongere amaanyi mu kuyoola kasasiro,” Kakembo bwe yagambye.

Ku ky’embwa baakubaganye empawa, Kakembo bwe yagambye nti wiiki bbiri eziyise batta embwa 60 ate Lubuulwa n’agamba nti  batta 200!

Kasasiro afuuse bimuli e Mukono!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...