TOP

Muhangi akkirizza okusisinkana abasuubuzi

Added 19th November 2018

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya n’Engo) omukisa okuteekateeka olunaku lw’anaabasisinkana okumalawo ebibuuzo n’okwemulugunya kwe balina ku bukwakkulizo obupya bwe yabawadde ku ntandikwa ya wiiki eno.

 Muhangi

Muhangi

Bya MOSES KIGONGO 
OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya n’Engo) omukisa okuteekateeka olunaku lw’anaabasisinkana okumalawo ebibuuzo n’okwemulugunya kwe balina ku bukwakkulizo obupya bwe yabawadde ku ntandikwa ya wiiki eno.
 
Muhangi okukola kino kiddiridde ebbaluwa enkambwe eyawandiikiddwa RCC wa Kampala, Faridah Mayanja ng’amusaba okusisinkana abasuubuzi abakolera ku bizimbe bye mu bwangu n’ekigendererwa ky’okuwuliriza okwemulugunya kwabwe okwayisiddwa mu kibiina kya KAAFO ekibagatta ku nsonga y’obukwakkulizo obupya bwe yabawade omwabadde ne ssente z’okwewandiisa ze bagamba nti teziri mu mateeka.
 
Mu birala mwabaddemu eky’okumuwa olunaku lw’okumusisinkana boogeremu ku nsonga z’okukomya omuze gw’okunyigirizanga abasuubuzi buli kiseera lwe wanaabeerangawo enkaayana zaabwe n’abagagga okuli Drake Lubega ku kifo kya Qualicel.
 
Mu bbaluwa y’emu era Mayanja yalungamizza Muhangi nga bw’ateekeddwa okukoma ku ky’okusolooza ssente z’obupangisa zokka okuva mu basuubuzi abakolera mu bizimbe bye so ssi kubatiisatiisa kubagoba singa banaaba tebamuwadde ssente za kwewandiisa mu kkampuni ya Horizoni Coaches ng’agamba nti teziri mu mateeka.
 
Wabula ku kino, Muhangi yategeezezza nti tewali ssente gy’asolooza mu basuubuzi be nga teziri mu mateeka kubanga zonna ziriko lisiiti. Yamuwadde amagezi agenda amuwawaabire mu kkooti bwe kiba nga ky’akola tekiri mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...