TOP

Omusajja eyawambye ow'emyaka 6 n'adduka atadde bazadde be ku bunkenke

Added 28th July 2020

Maria Nsangi eyawambibwa omusajja atannategeerekeka n’amubuzaawo.

Maria Nsangi eyawambibwa omusajja atannategeerekeka n’amubuzaawo.





Omwogezi wa poliisi mu ttundutundu lya Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Maria Nsangi ow'emyaka 6 ng'abadde asoma P.1 ng'azaalibwa Zaina Nalujja ne Peter Mukasa ye yawambiddwa ku Lwomukaaga.

Onyango yagambye nti oluvannyuma lw'abazadde ba Nsangi okutwala ensonga zino ku poliisi e Mukono, baatunudde mu bifaananyi ebyakwatibwa kkamera za poliisi ezaatekebwa ku luguudo olugenda e Katosi nga zaalaze ng'omusajja atambula n'omwana olwamaze n'alinnya naye ttakisi ne bagenda ku ludda lw'e Katosi.

Yategeezezza nti bali mu kukola kyonna ekisoboka okulaba nga banoonya omusajja oyo asobole okukwatibwa ng'omwana tannamutusaako bulabe.

Akawala nga kayingira mu mulyango gw'omuzigo omwana eyawambibwa we yali abeera.

Nalujja maama w'omwana yagambye nti omwana yamuyitako ku lubalaza ku Lwomukaaga olweggulo ssaawa nga 9:30 n'agenda n'atamufaako ng'alowooza agenze mu banne ku muliraano kuzannya.

"Eby'embi bwe ziwera ssaawa nga 12:30 kwe kutandika okumunoonya nga talabika. Twasula susamba nsiko naye ne tutamulaba olwo ne tugenda ku poliisi e Mukono ne tugitegeeza ensonga. Bwe baatutwala mu kisenge omuli kkamera, baatulaga ebifaananyi ng'omusajja amukutte ku mukono amutwala n'amala n'amulinnyisa ttakisi ne bagenda.

Wabula omusajja ono ffe tetumumanyi era tetumanyi yajja atya okumatiza omwana atuuke okugenda naye!" bwe yeebuuza wakati mu birowoozo n'ennaku.

Maria Nalujja maama w'omwana gwe baawamba ng'ali mu birowoozo.

Mukasa kitaawe wa Nsangi yagambye nti tebannategeera lwaki omwana waabwe yatuuka okuwambibwa nga tebalina muntu gwe balinako nsonga yonna wadde empalana.

Sarah Nalubowa omutuuze ku kyalo Namumira ku luguudo olugenda e Katosi omusajja gye yalinnyira ttakisi n'omwana yagambye nti yabalaba kyokka n'atategeera wag ye baali bagenda kuba n'omusajja gwe yali naye baali tebamimanyi wabula nga tebaafuna kirowoozo kibabuuza wag ye baali balaga.

Onyanmgo yasabye buli muntu okuyambako ku muyiggo gw'omutemu ono era bayambe okuwa poliisi amawulire agayinza okugituusa ku wa omusajja ono gye yatwala omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...