TOP

Bobi Wine asisinkanye Nambooze n'abavubuka abateekateeka okwesimbawo

Added 29th July 2020

Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine yasiisidde ne Nambooze mu kafubo akakulungudde edssaawa eziwera era ne katuuka okuggwa ng’obudde buzibye.

Kyagulanyi yasisinkanye Nambooze mu makaage agasangibwa mu Njogezi mu kibuga ky'e Mukono ku Lwokubiri n'afuna omukisa okwogerako n'abavubuka bonna abali wansi w'ekisinde kya People Power n'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) nga beegwanyisa ebifo eby'enjawulo eby'obukulembeze mu kulonda kwa bonna okubindabinda okw'okubeerawo ku ntandikwa y'omwaka 2021.

Wabula wadde Kyagulanyi yagenze ewa Nambooze mu ngeri ya nkukutu, amawulire bwe gaagudde mu matu g'abavuzi ba bodaboda nti yabadde atuuse ew'omubaka ne bazisamba ne boolekera ekyatemezza ku poliisi olwo n'ezambalira ku migongo n'ebalumba ne bubeefuka.

Bano poliisi yabakubyemu omukka ogubalagala n'ebatwala nga tebalinnya olwo n'egezaako okuyingira ewa Nambooze ekwate Kyagulanyi.

Abapoliisi abaakulembeddwa akulira poliisi y'e Mukono, Ismail Kifudde baamenye ekikomera kya Nambooze ne bayingira mu ppaakingi ne babeerako abavubuka be baakutte okuli ne kkansala Allan Mawanda.

Wabula ekigendererwa ky'okukwata Kyagulanyi kkyo kyagudde butaka poliisi n'egenda olwo ye n'ayogera eri abavubuka oluvannyuma ne yeesogga olukiiko olw'akafubo ne Nambooze ssaako abamu ku bakulembeze b'ekiwayi kya DP abakkiririza mu mubaka.

Akafubo kano kaagendedde ddala okutuusa ssaawa bbiri n'ekitundu ez'ekiro olwo n'afuluma n'ayingira mu mmotoka ye nga tayogedde na ab'amawulire n'akwata eridda ewuwe.

Nambooze yagambye nti bakkaanyizza Bobi Wine n'aweereza empapula abavuka kwe bagenda okwewandiisiza abo abaagala okuvuganyiza mu kibiina kya NUP nti agenda kubawa ekifo we baba bakolera.

Yagambye nti naye akyayongera okwebuuza nga ssaawa yonna agenda kulaga oba yeegassse ku NUP oba nedda.

Wabula ssentebe w'ekiwayi kya DP ekya munisipaali ekyekutula ku kya Presidenti wa DP Norbert Mao ekikulemberwa meeya George Fred Kagimu mu disitulikiti y'e Mukono mu kiseera kino nga ye Haji Lukeman Sseggayi yagambye nti bakaanyizza ne Nambooze bbo n'abantu ababakkiririzaamu beegatte ku Bobi Wine mu kibiina kya NUP mwe baba bavuganyiza.

"Nambooze era yawadde Kyagulanyi n'ekibiina kya NUP ekifo we bagenda okuteeka ettabi lyabwe wano mu Mukono. Kino kyayaniriziddwa nnyo abawagizi b'omubaka abaludde nga bali mu masanganzira era bagamba nti kati balinze ssaaawa yokka zidde okunywa," Sseggayi bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...