TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Yeewuunya abayingiza eby'amawanga mu kusibwa kwa Polof. Bukenya

Yeewuunya abayingiza eby'amawanga mu kusibwa kwa Polof. Bukenya

Added 8th October 2011

Nedda, nedda, Hon. Mpuuga ebyo eby’okukubira musajjamukulu Bukenya akasonso nti baalyose ne bamutwala mu kkomera e Luzira, biviireko ddala.

Nedda, nedda, Hon. Mpuuga ebyo eby’okukubira musajjamukulu Bukenya akasonso nti baalyose ne bamutwala mu kkomera e Luzira, biviireko ddala.

Biveeko ng’ojjukira n’enjogera y’Omuganda egamba nti “ Awanise tasekerera wa nkenku”. Naawe nga bw’oli  mu byobufuzi owanise ate era oyinza okukenkuza essaawa yonna.

Mu byobufuzi okubba okwannamaddala okuvaamu emisango ng’egyo kati egireebuukanya musajjamukulu Bukenya. Naye ate eriyo n’eby’okusibwako amatu g’embuzi oliisibwe engo, naddala bw’oba ow’amaanyi nga Mpuuga waabwe.

Mu ngeri eyo gwe batutte mu kkomera osaasira musaasire sso si kumukubira kasonso. 
Wabula bwe kiba kyetaagisa musajjamukulu okumukomereza olw’enneeyisa ye ebadde embi, kale mumukomereze.

Bw’aba yagamba nti kyali kyetaagisa leediyo ya CBS okugiggalawo mbu kubanga yali yeeyisizzaawo nnyo n’eva we bootera omuliro, neetuuka we batulisiza emberenge, mu mukomereze nga mumubuuza kweyisaawo kwangeri ki.

Ye okwamututwazizza e Luzira bamutulise?
Ate kano akatyabaga akagudde mu ggwanga temusooka kukayingizaamu bya mawanga.

Toyinza kugamba nti, Bukenya bamusibye lwakuba Muganda, nga weerabidde nti Seezi Cheeye eyasooka okusindikibwa e Luzira amaleeyo emyaka ekkumi olw’okukumpanya ensimbi za Chogm oyo si Muganda.

Kiri ekyogerwa Madame Ttica Nambooze ekya “ Kati mu ggwanga mulimu abaana n’ebyana” ekyo kye muba muyeeya.

Kubanga naawe sooka weebuuze bwekiba nti Bukenya yali wamu ne banne nga bagabana ensimbi za Chogm, lwaki ye yekka gwe basindise e Luzira abalala ne basigala nga bayinaayina?

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku ey’omwana wabobwe Bukenya okutwalibwa e Luzira olw’ensimbi za Chogm, kyokka bo Bamuleberebe Mugoziita ababbye eggwanga obuwumbi n’obuwumbi bwa lupiiya ne basigala nga beegiriisa bwegiriisa ng’ekigotta entula!

Tulabye ennaku kubanga amagezi gatwesibye kubanga bwe tugamba nti Bukenya tabbanga wabula bamuleeseeko mpalana za byabufuzi, oba nti bamuwalana kuba Muganda. Ebyo byonna tekuli kirungi wabula folofotto mwereere.

Obubbi kibi naddala eri omukulembeze w’abantu alinga Bukenya. Sso ate n’empalana z’ebyobufuzi mbi nnyo kubanga ziyinza n’okugaana eggwanga lino okugenda mu maaso ne zirigetageta.

Sso nga n’ebyokulowooleza mu mawanga nabyo bibi nnyo kubanga bye biyinza okuvaako Abaganda okwegatta n’Abanyankole ne babba ensimbi za Gavumenti, kyokka ne basibako Baganda bokka bo Abanyankole ne basigala nga bayinaayina.

Bagundi musaanye mujjukire nti esigadde mbale  Uganda esajjakule ng’ewezezza emyaka 50 be  ddu bukya yeefuga.

Uganda okusajjakula kyokka neesigala nga yeerina abakulembeze ababbi, abakotoggera bannaabwe olw’empalana z’ebyobufuzi oba abalowooleza mu mawanga nga tebaagaliza za bannaabwe (ente oba embuzi) kuzaala nduusi, awo okwefuga kwaffe kuba kujungulukuse ne kufuuka folofotto.Sikulimba.

Yeewuunya abayingiza eby’amawanga mu kusibwa kwa Polof. Bukenya

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu