TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mzee Zedde: Akuba mu balema tiyagaasi asuubira okugenda mu Ggulu?

Mzee Zedde: Akuba mu balema tiyagaasi asuubira okugenda mu Ggulu?

Added 21st September 2013

Eyakubye omukka gwa ttiyagaasi mu balema nga beekalakaasa mu Kampala talizuukira kubanga ne bw’oba wakambuwala otya abalema tebakubikamu ttiyagaasi.





Eyakubye omukka gwa ttiyagaasi mu balema nga beekalakaasa mu Kampala talizuukira kubanga ne bw’oba wakambuwala otya abalema tebakubikamu ttiyagaasi.

Abalema baabadde n’ensonga okwekalakaasa. Bagamba nti Museveni waabwe abamanyidde ku nnaku, yabawa ettaka e Wandegeya bakolereko emirimu egy’okweyimirizaawo. Kyokka bakanze kulinda kubakwasa kyapa ky’ettaka lyabwe eryo, nga butereere teri kanyego.

Ekyo kye kyabatutte okwekalakaasiza okumpi ne Palamenti mu Kampala bafuneyo akanyego ku kyapa kyabwe, kubanga bakimanyi nti eby’ennaku zino abeekalakaasa be bawulirizibwa amangu.

Wabula abalema abano beerabidde nti poliisi ennaku zino baagirogera mu kutiiriisa ttiyagaasi. Nga bwe mutiiriisiza mu beekalakaasi abalamu, era ne ku balema bwe yakoze. Mwattu nabo teyabakwatiddwa kisa kyonna yabatiiriisirizzaamu ttiyagaasi ne bongera okubonaabona!

Naye nno osuubira ttiyagaasi yasobodde okugumbulula abalema bano abaabadde baswaakidde, waapi? Balemeddewo ne bagenda mu maaso n’okwerwanako.

Oluvannyuma yabadde omukungu wa Gavumenti Mayanja Nkangi eyayogedde eri abalema nabagumya nti akakiiko k’ebyettaka kaakulira, kanaatera okufulumya ekyapa ky’ettaka lyabwe Museveni lye yabawa. Kigambo bugambo ekya Mayanja Nkangi kye kyagumbuludde abalema sso si ttiyagaasi wa poliisi!

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku etakoma! Kubanga naawe sooka weebuuze ssente Gavumenti eziggya wa ezo ezigula ttiyagaasi poliisi gwetiiriisiza mu balema nga beekalakaasa olw’ekyapa ky’ettaka lyabwe Museveni lye yabawa, sso nga n’ensimbi ezongeza emisaala gy’abasomesa zigibuze n’abasomesa bali mukwekalakaasa, amasomero gasannyaladde abaana b’eggwanga nga tebakyasoma.

Naye ate lyo etteeka erifuga ttiyagaasi linakolwa ddi? Ttiiyagaasi atuuse nokutiiriisiza mu balema asaanye okubaako etteeka erirambika enkozesa ye sso si kujajaamizibwa atyo naatuuka n’okufuuyirwa abalwadde ko n’abaana abawere.

Afande Andrew Kaweesi adduumira poliisi mu Kampala kijja kumwetaagisa okusitukiramu agende yeetondere abalema era abasabe ekisonyiwo olwa poliisi okubakuba ttiyagaasi ow’omutyobooko.

Oba sikyo mungu yandinyiiga naabako bakuba ebbalaayi ne bagungalala sikulimbamu nakatono kokka. Oswii!

Yeewuunya: Akuba mu balema tiyagaasi asuubira okugenda mu Ggulu?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...